Amatendekero g’omutendera gwa Primary Teachers’ Colleges ( PTC) agawera 23 gayimiriziddwa okusomesa abasomesa ku mutendera guno, oluvanyuma lwa government okuyisa enkola nti abasomesa abafuluma balina kuba n’obuyigirize bwa degree, nga kitegeeza balina kugenda mu University.
Amatendekero okuli Jinja PTC ligenda kufuuka ssomero lya secondary e Jinja, Kotido PTC egenda kufuuka ttabi lya Gulu University.
Erepi PTC Moyo yakufuulibwa ettabi lya Muni University, Paidah PTC Zombo yaakufuuka ettabi lya Kyambogo, Kabwangasi PTC Butebo yakufuuka ttabi lya Busitema University.
Rukungiri PTC yakufuuka ttabi lya ssettendekero wa Kabale, Canon Lawrence PTC Boroboro lyakufuuka ttabi lya Lira university e Lira.
Amatendekero amalala kuliko Kisolo, St Augustine PTC Kyenjojo, Christ the King PTC Gulu, St Mary’s PTC Bukedea ne Bundibugyo PTC, gakufuulibwa matendekero g’abasawo.
Waliwo amatendekero amalala agagenda okufuulibwa amatendekero g’eby’emikono okuli Ruhunjiro PTC, Rakai PTC Kyotera, Kamurasi PTC e Masindi.
Kaliro PTC, Irungu PTC mitooma, Bwera PTC Kasese, ne Kabukunge PTC e Kalungu gano gaakufulibwa matendekero gabasomesa naddala abasomesa abaliko obulemu n’ebirala.
Minister w’eby’enjigiriza era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga, Janet Kataha Museveni agambye nti amatendekero 23 gegayimiriziddwa, era gakutandika okukola mu nteekateeka empya nga government efunye ensimbi.
Minister Kataaha era akakasizza nti omuwendo gw’abayizi abakola amasomo ga science naamasomo amalala gweyongedde newankubadde nti wakyaliwo obuzibu mu ssomo ly’okubala.
Mu ngeri yeemu bw’abadde asoma ebyavudde mu bigezo by’abayizi ababadde basoma obusomesa bw’omutendera gwa primary Ann Begumisa, akulira ebyenjigiriza ku ssetendekero wa Kyambogo, agambye nti waliwo naabayizi 204 abatayise bigezo nga balina okubiddamu era tebagerekeddwa mu grade yonna.
Abayizi omugatte abaatuula ebigezo omwaka oguyise baali 5,576 nga kubano 130 bebayitidde mu daala erisooka, 3616 bayitidde mu daala lyakubiri, ate abayizi 40 bokka bebayitidde mu daala eryokusatu.
Bisakiddwa Ddungu Davis