Abayimbi aba Ganda Boys bakiise embuga nebasisinkana ba Jajja abataka abakulu Ab’obusolya, okubaloopera olutabaalo werutuuse olw’okubunyisa Ekitiibwa kya Buganda mu nsi yonna.
Omutaka Augustine Kizito Mutumba Nnamwama, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abeebazizza olw’okutumbula olulimi oluganda, n’okwagala Obuwangwa n’Ennono bya Buganda.
Jajja Namwama agambye buli muzukkulu alina ekkatala ly’ okulima olubimbi lwe mu kaweefube w’okukuumira Ekitiibwa kya Buganda ku ntikko.
Namwama yebazizza abazzukulu aba Ganda Boys okuli Denis Mugagga muzukulu wa Kabazzi eyeddira Akasimba ne Ssewagudde Daniel muzukulu wa Lwomwa eyeddira e Ndiga, olw’omulimu gwebakoze ogw’okukozesa ebitone byabwe nebagatta ettoofaali kukutumbula ekitiibwa kya Buganda.
Aba Ganda Boys bagenze batalaaga ssemazinga zonna nga batendeka abantu baayimba oluyimba EKITIIBWA KYA BUGANDA, n’okukikuba mu bivuga ebyenjawulo.#