Amagye mu ggwanga lya Gabon bawakanyizza ebyavudde mu kulonda kwa president okwabaddewo wiiki ewedde nti kwabaddemu okubbira akalulu, nebalangirira nti bakusazizaamu okukuuma emirembe mu ggwanga eryo.
President Ali Ben Bongo yalangiriddwa ku buwanguza n’ebitundu 64.27%.
Abamu ku baduumizi b’amagye basinzidde ku TV y’eggwanga eya Gabon 24, nebalangirira nti ne ssemateeka w’eggwanga asaziddwamu, president abaddeko Ali Bongo nti naye akwatiddwa, saako okuggala ensalo z’eggwanga.
Ali Ben Bongo yafuna obuyinza obukulembera Gabon mu 2009 kitaawe Omar Bongo eyali yakafugira emyaka 42 bweyafiira mu ntebe.
Obukulembeze bwa Ali Bongo bwatandika okuyuuga mu 2018, bweyafuna obulwadde bw’okusannyalala.#