Bannakibiina kya FDC mu kiwayi ekituula e Najjanankumbi 77 basunsuddwa okuvuganya ku bifo 38 ebyóbukulembeze bw’ekibiina kino obwókuntikko.
Libadde ssanyu nókusaakaanya ku kitebe kye kibiina kino e Najjanankumbi, abakulembeze okubadde Eng Patrick Amuriat Oboi, Nathan Nandala Mafabi, omubaka Yusuf Nsibambi, John Kikonyogo nábalala bwebakakasiddwa okuddamu okuvuganya mu bifo byabwe okukulembera ekibiina kino ekisanja ekyókubiri.
Eng. Patrick Amuriat Oboi wakuvuganya ne Moses Byamugisha, ne Dan Matsiko ku kifo ekyóbwa President.
Nathan Nadala Mafabi ku kifo ekya Ssabawandiisi, ayiseewo nga tavuganyiziddwa oluvannyuma lwa balala okulemwa okukomyawo empapula zabwe.
Jack Sabiiti eyali omuwanika w’ekibiina kino naye ayiseewo ku kifo kyóbwa Sentebe we kibiina nga tavuganyiziddwa, oluvanyuma lwa banne okulemwa okukomyawo empapula zabwe.
Ekifo ekyómwogezi w’ekibiina ekirimu omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda kivuganyiziddwako abantu 4 okuli John Kikonyogo, Robert Centinary, Idi Oum, ne Muhammad Benty.
Eng Patrick Oboi Amuriat oluvanyuma lwókukakasibwa okuddamu okuvuganya kubwa President we kibiina ategezezza nti emyaka gyonna egyóbukulembeze bwe gibadde gya kusika muguwa, era n’ategeeza nti siwakukkiriziganya naabo abaagala okukolera mu nkwawa zabwe.
Omubaka Yusufu Nsibambi oluvanyuma lwókusunsulwa ategezezza nti abakulembeze bonna abewaggudde balina okuddabirizibwa wakiri okufuuka bakakuyege b’ekibiina olwómuzinzi gwebalina.
Nathan Nandala Mafaabi ategezezza nti tebagenda kuddamu kukkiriza bantu abavudde mu bibiina ebiralala okuweebwa ebifo ebyókuntikko, nti kubanga abamu bebaviirako obutakkanya obuliwo mu kibiina.
Jack Sabiiti avuganya ku kifo kyóbwa Sentebe ategezezz tebagenda kukkiriza bantu abatyoboola ssemateeka we kibiina kyabwe.
Okulonda kwe kiwayi kino kusuubirwa okubaawo nga 6th October,2023 mu ttabamiruka w’ekiwayi kino agenda okubeera ku UMA conference center e Lugogo mu Kampala.
Bisakiddwa: Ssebuliba William