Abakulira essomero lya Ian College Senior Secondary School n’abakulira ebyenjigiriza mu district ye Lyantonde baligadde, entabwe evudde ku bayizi okwekalakaasa nga bawakanya ekyokugoba bayizi banaabwe.
Akulira ebyenjigiriza mu district ye Lyantonde, Musimetta Fredrick, mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti ebitonotono ebyakazuulibwako biraga nti abayizi baabadde n’amafuta ga Petro ne bibiriiti nga bagenderera okwokya essomero.
Mu kiseera kino waliwo abayizi 11 abakwatiddwa nga bakuumibwa ku Police enkulu eye Lyantonde,okuyambako police mu kunoonyereza ebisingawo.
Abazadde b’a baana abakwatiddwa basangiddwa ku Police ye Lyantonde nga bewunaganya ku kyaviiriddeko abaana okwekalakaasa.
Omuze gw’abayizi okwekalakaasa amasomero negaggalwa mu lusoma luno olusooka omwaka 2022 gubadde waggulu,so nga wabadde wayise emyaka ebiri miramba ng’amasomero tegakola olw’omuggalo ogwaleetebwa ekirwadde ki Covid 19.
Ebitundu bya West Nile n’obukiika kkono bwe ggwanga byebisinze okubaamu abayizi okwekalakaasa amasomero agasoba mu 10 negaggalwa.