Mu program Entanda ya Buganda mu lumeggana olw’envuunula bibya ku 88.8 Ey’obujjajja ne ku You Tube CBS FM UG Official Channel nga 12 November,2024 abamegganyi Nnanteza Grace eyafunye obugoba 21 ne Kizito Tonny eyafunye obugoba 18 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Sseppuuya Moses eyafunye obugoba 11 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda.
1. Emigaso ebiri egy’amasannyalaze eri omuntu…… Gatuyamba okutumulisa n’okuyamba abalwadde abeetaaga okussibwako omukka ogw’obulamu.
2. Enva endiirwa nga kabbiro……. Kiyindiru.
3. Olugero: Obulungi bwa nnakayonga… Bukosa makungula.
4. Tereeza Ssentensi, Tugenda kulya nswa nkalu……. Tugenda kuwema obwangule.
5. Omuntu alandiza ekiryo bwomwebaza ayanukula atya mu lulimi lw’abalimi?….. Kibale eⴄⴄunda.
6. Omuyizzi wa Kabaka omukulu obutaka bwe busangibwa ku mutala ki? …..Bbongole mu Mawokota.
7. Ani yawandiika omuzannyo Bemba Musota?…… Elly Nathan Kyeyune.
8. Amakulu g’ebuziba Okulya ebitali biramule? …… Okulya ebintu mu makubo agatali matuufu.
9. Tuweeyo ebizibu by’amasannyalaze bya mirundi ebiri…… Ssinga tegassibwamu bulungi gayinza okutta omuntu n’okwonoonya ebintu ssinga gaba gakozeseddwa bubi.
10. Nnakasugga nva ndiirwa, tuwe erinnya ery’enva ezo erisinga okumanyibwa……. Nnakati.
11. Olugero: Musamba ndu… Ekitembe akiyita kkuutwe.
12. Ekikolwa ekyokuggya ebyoya ku nswa kiweebwa linnya ki? …….Kukuyeeya.
13. Mu lulimi oludda ku balimi b’ebiryo mulimu ekigambo okukuukuuta, okukuukuuta kitegeeza ki? …….Okulanda kw’ekiryo.
14. Omuyizzi wa Kabaka omukulu ava mu kika ki eky’Abaganda…….. Kkobe.
15. Ani yawandiika Omuzannyo Looziyo Bba Sseseria?……. Wyclif Kiyingi.
16. Okuba balwejiira ng’ensimbi egula muwogo kitegeeza ki? ……..Okwereetera ekintu nga kijja kukuviiramu obuzibu.
17. Engeri bbiri zooyinza okuyitamu okwewala ebizibu ebireetebwa amasannyalaze……..Okukozesa abakugu n’okukozesa ebyuma eby’omutindo omutuufu.
18. Waliwo enva endiirwa eziyitibwa enkungwa, zeeziriwa? Enkunga efaanana ng’ebbuga naye era ewavuwa nnyo okusingako ku bbuga.
19. Olugero: Kambe kabenge… Tekataliza nnyiniko.
20. Kwanaganya ekigambo muzinge n’enswa. Muzinge z’enswa ezizungira waggulu ku muti.
21. Bwetusanga omuntu alandiza ekiryo tumwebaza tutya mu lulimi olwo. ….Kisuule emisanvu.
22. Erinnya ly’omuyizzi wa Kabaka Omukulu….. Nnamukangula.
23. Ani yawandiika omuzannyo Mirembe….. Aloysius Matovu Joy.
24. Amakulu g’ekisoko Okulya omuluka……. Okuwangula banno bwemubadde muvuganya.
25. Mu lulimi oludda ku balunzi, kiki kyebayuta akatoloogo? …….Akaana k’ensolo akaba kavuddemu.
26. Omusajja akulira ekitongole ekisiba empombo za Kabaka……..Muwanga
27. Olugero: Ekiti ekivunduvundu… Kyekiziika omuliro.
28. Ensaasi z’omuⴄⴄoma tezivuga zikolaki?…. Zisaakaanya.
29. Kinyonyi ki kyeboogeza ebigambo nti lino ly’engedde neriri lyengedde. ……Ssossolye.
30. Emmese ezimba ku ttooke…….Kikirikiisi.
31. Amakulu g’erinnya Zansanze erituumwa omwana omuwala. ……Mu bugumiikiriza mwemuva obuwanguzi.
32. Omuntu bwakugamba nti ku bugenyi baaliddeyo omutaka w’Enjovu otegeera ki?…. Omanya nti baaliddeyo ennyama y’omukalo.
33. Eⴄⴄoma ezikubwa mu mukolo gw’okwalula abalongo……. Empakula bulwa.
34. Olugero. Aggya eryannamere….. teyeeganya bagenyi.
35. Ani yayimba oluyimba Eddaame lya Cchwa? ……Christopher Ssebadduka.
36. Bwosanga omuntu akuba empafu, bwomwebaza addamu atya?….. Nti nkonyogo.
37. Abaganda baagereesa nti waliwo omuti oguyamba ku nte okukuza abaana baayo, muti ki? …….Enkuza nnyana.
38. Kyalo ki okuli olwanga lwa Kabaka Cchwa Nabakka? ……..Tekiriiyo.
39. Omulembe gwa Idi Amiini gwawambibwa mu mwaka ki?…. 1979.
40. Ekikolwa ky’omwana omuwere bwatandika okufuna omubiri omuganda akyogera ko atya? ……Nti abozze.
41. Omusajja yawudde omufaliso omuggo be……..Bbu.
42. Ekikolwa ky’okuggya ebigogo ku kitooke kiweebwa linnya ki? …..Okuwoolera.
43. Olugero: Kyoyagala tekikwagala…… Gyokuba olubuto entumbwe ekubayo mabega.
44. Amaaso ag’ebiranda gaba galabika gatya? …….Omuntu agalina gaba gamusiiwa.
45. Kiki ekiraga obuyinza bwa Katikkiro wa Buganda?…….. Omuggo Ddamula.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K