• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku

Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku

December 8, 2023
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za  Uganda

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda

May 24, 2025
Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

May 24, 2025
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Uncategorized

Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku

by Namubiru Juliet
December 8, 2023
in Uncategorized
0 0
0
Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku
0
SHARES
129
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Omutendera Kinyoolankoto mu program Entanda ya Buganda,  Boogere Richard eyafunye obugoba 25 ne Balunginsiiti Stevens eyafunye obugoba 21 baayiseewo okweyongerayo ate Kabuuka Jamiiru eyafunye obugoba 17, yawanduse

Biibino ebibuuzo by’entanda “Kinyoolankoto”;

1. Omuntu gwebaasibanga emikono mu maaso nga bamutwala ku mbuga yabanga azzizza musango ki? – Gwa kulwana

2. Ekikolwa kya Nabikande okukima omuzaana mu lubiri agende amulabirire kiweebwa linnya ki? –  Okugula Omuzaana

3. Okusiika ebinyomo kisoko, kitegeeza ki? –  Kumala budde mu bitagasa

4. Ani yawandiika omuzannyo Nnamulanda? –  Waalabyeki Magoba

5. Kyakula ndaba abulwa waazaala, amakulu ki agali mu lugero olwo? – Abantu abamu bafiirwa emikisa gyabwe lwakwekwasa busongasonga

6. Amakulu agali mu linnya Kyafubutuka eryatumwa omulongo wa Kabaka Tebuukwereke –  Yakolanga nnyo ebintu ng’apapa nga tasoose kwetegereza

7. Magezi ki agali mu kikolwa ky’obutalya nswa esooka okufuluma? – Oleme kukanga nswa, n’omuntu obutamala biseera ku nswa eba egenze

8. Ekibumbe kya Katikkiro wa Buganda ekiri ku luguudo Kampala Road – Katikkiro Michael Kawalya Kaggwa

9. Omuganda bweyalabanga omuntu nga bamusibye omugwa mu kiwato, yabanga azzizza musango ki? –  Yabanga agaanye okusasula omusolo

10. Ekisaanyizo ekikulu ekisooka okulowoozebwako mu mpisa y’okulonda Nnabikande –  Alina kuba muganda wa Nnamasole

11. Okukamulira omuntu olukoni ku liiso kisoko, kitegeeza ki? – Okukwatirwa omuntu ettima

12. Ani yawandiika Omuzannyo, Ssemitego Omuyizzi Kkungwa? – Mercy Mirembe

13. Nnajjukiranga ne nseka nga sigwebakigambye, olugero olwo lulimu makulu ki? – Abantu abamu bakudaalira nnyo mu bizibu bya bannaabwe

14. Erinnya Wazziba eryatuumwa omulangira wa Kabaka Jjemba lirimu makulu ki? – Yaziba abalangira abalala amaaso n’abalyako Obwakabaka

15. Bwoba ova okuzuuka enswa, kizira okufuluma ebweru ng’omaze okuyingira enju, Magezi ki agakirimu – Okwewala ensolo eziyinza okukutuusaako obulabe

16. Enguudo mu Kibuga Kampala ezabbulwamu amannya g’amasaza ga Buganda – Kyaddondo Road ne Kyaggwe Road

17. Waliwo lwosanga omuntu nga bamusibidde emikono emabega, aba yazzizza musango ki? –  Aba yabbye

18. Ennono y’erinnya Nnabikande – Okuggya eddagala ku lukande

19. Kakutiya okukwezingako, kisoko kitegeeza ki? –  Omuntu abeera mu njala olubeerera

20. Ani yawandiika omuzannyo Nze mbimaze –  Prisca Nakitto

21. Amakulu agali mu lugero Kiridde bwami tekibulwa nganda – Omuntu bwatuuka awalungi tabulwako bamutuukirira

22. Omulongo wa Kabaka Jjunju yamutuuma Tawutta, Magezi ki agali mu linnya eryo? – Kabaka nebwakaddiwa asigala ategeera

23. Eriiso ly’enswa tebalisonzaamu lugalo, balisonzaamu ki? – Kinonko

24. Oluguudo olwayitibwanga Southern Street, kati luyitibwa lutya? – Benedicto Kiwanuka Street

25. Omuntu okufuuka omutwalo kisoko, kitegeeza ki?   Kufa

26. Ekitembe kibalako amatembe, bwotagayita matembe ogayita otya? –  Amafuluuta

27. Kkoyi kkoyi, omwana ow’eddalu azaalibwa ddi? –  Nnaku zino

28. Olugero: Kabaka akussa owuwo –  essanja libabula endagala

29. Ababaazi balina kyebayita kaamuddiba, kyeki? –  Ye nnyama gyebasubula mu ddiba

30. Ekisaanikira ky’ensuwa? –  Ssibiiti

31. Kiki Omuganda kyayita empawa? – Ebiwaawaatiro by’ekinyonyi

32. Enjuki esooka ku ssogolero tebagiganya kudda gyevudde lwaki? –  Bweddayo eyinza okuyita endala nezijja nezitaataaganya abasogozi

33. Kabaka ki eyakuba olubiri lwe ku lusozi, Nkaawo nga buli kati ekifo ekyo kikyaliwo? – Mwanga II

34. Omuti kwebasitulira ensolo eyiggiddwa? –  Omuluumu

35. Olugero: Omulungi akunoba –  Enjala netagwa

36. Mu mirimu egikolerwa Kabaka mulimu n’ogwokuwala amaliba, mutaka ki akivunaanyizibwa ku ekyo? – Omutaka Katula

37. Ekisoko, Okukumbira omuwala kitegeeza ki? –  Okwogereza omuwala

38. Mu mpisa z’Abaganda waliwo lwebaabiza omusajja olumbe wadde nga bakimanyi nti omusajja oyo gyali mulamu, kibaawo ddi? – Ssinga omusajja yeefumbiza eri omukazi

39. Entumwa tettirwa gyebagituma, tuwe amakulu ga mirundi ebiri ag’entumwa? – Omuntu aweereddwa obubaka okubutwala awantu n’enjuki esooka ku ssogolero

40. Enjulu ezinaaluka ekibbo bazooka kuzifumba bakikola batya? –  Baziteeka mu kigogo

41. Kasooli w’empeke bwafumbibwa n’aliibwa ng’emmere aweebwa linnya ki? – Mpengere

42. Embaata z’okumazzi omuganda yaziwa linnya ki? – Ebiyoyo

43. Omuntu Omuganda gwayita Nnantabwaza yaaba atya? – Omuntu omwavu ennyo

44. Olugero: Ssenkuba ya ggulo – Bwetakuba mubbi ekuba mulogo

45. Obuvunaanyizibwa bwa Kiweewa omwana omulenzi omukulu owa Kabaka, bwe buliwa? –  Okulabirira abaana ba kitaawe abalangira n’abambejja obutatuusibwako bulabe

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda
  • Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde
  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe
  • Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024
  • Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -