• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Omwavu bwatunda talaba agula –  ate bwagula talaba atunda

Eno ye Ntanda: Omwavu bwatunda talaba agula –  ate bwagula talaba atunda

November 28, 2023
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za  Uganda

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda

May 24, 2025
Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

May 24, 2025
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Omwavu bwatunda talaba agula –  ate bwagula talaba atunda

by Namubiru Juliet
November 28, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Omwavu bwatunda talaba agula –  ate bwagula talaba atunda
0
SHARES
113
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abamegganyi Ssempijja Nyansio eyafunye obugoba 20 ne Kalulu Godfrey eyafunye obugoba 19 basuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Kasagga Robert Kavuma eyafunye 7 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda eya nga 27 November,2023.
1. Kabaka alina omumbowa gwebayita Ssebatta, wakika ki? –  Ngeye

2. Olugero luno lutuyigirazaaki? Anaalemwa ebbuzi okutuga nti lintunuulidde –  Lutuyigiriza obutwekwasakwasanga busongasonga nga tulina kyetuteekwa okukola

3. Abayizzi balina ekigambo Mulyambisi, kyeki? – Effumu

4. Enkoko ewerennemba, mu kuwerennemba eba ekola etya? –  Eba etandika okukookolima

5. Omuntu okuba neerya Alifuleedi, kitegeeza bubbi. Erya Alifuleedi kyekki? – Eggalo

6. Ani yawandiika ekitabo Olusozi lw’abatulege? –  Andrew Benon Kibuuka

7. Tuweeyo engeri bbiri Omuganda zeyeeyambisa okutangira emisota awaka? – Ayinza okusimba taaba okwetoloola amaka n’okusimbawo ebimera ebirala ebiwunya

8. Mulangiraki eyasomesa Kabaka Daudi Cchwa empisa ez’obulangira? – Omulangira Nuuhu Kyabasinga Mbogo

9. Kabaka bwaba agenda okuyigga waliwo ekimu ku bika by’Abaganda ekimukulembera kyekiriwa? – Ab’embwa

10. Olugero luno lutuyigiriza ki? Kibi kyo kikira ekirungi ekyamunno – Lutuyigiriza okuba abamativu nekyetulina

11. Abayizzi balina ekizigo kyebayita eky’omukukumbo, kyekiriwa? – Kyekyo ekibaako ensolo ennyingi ate nga zanjawulo

12. Abalunzi b’enkoko balina ekigambo ekiteekerezo, kitegeeza ki? –  Ekibbo enkoko mweyalulira

13. Okuba mu gwe busami kisoko kitegeeza mbeera yakusoberwa, ogw’e Busami gwemuki? –  Omugga Nneemagaza

14. Ani yawandiika omuzannyo Muduuma kwekwaffe? – Wyclif Kiyingi

15. Tuwe engeri bbiri omuganda zeyeeyambisa okutangira obusagwa bw’omusota okutambula mu mubiri gwe? – Okusiba ekigoye waggulu ne wegulumye n’okusalawo omusaayi negufuluma

16. Tuwe omwaka omuzungu weyatandikira okusomesa Kabaka Daudi Chwa II? – 1905

17. Waliwo omumbowa ayitibwa Mpinga, ava mu kika ki? –  Lugave

18. Olugero, Tunaabiwulira tadduukirira nduulu, lutegeeza ki? –  Sikirungi okulekerera bannanffe nga bali mu buzibu

19. Waliwo abayizzi kyebawanuuza ku nsolo ezigiddwa omukazi, ensolo eyo bagiwanuuzaako ki? – Bawanuuza nti eteekwa okufa

20. Abaganda balina enkoko bagiyita Nkooto, yeetya? – Yetaba nabyoya ku lusingosingo

21. Okusindibwa ow’e Bukeerere, mbeera ya kubongoota, Ow’e Bukeerere yaani? – Mulo

22. Ani yawandiika Omuzannyo Omunaala? – Ssenkubuge Siyaasa

23. Waliwo emisota Omuganda gyagamba nti tegiba na busagwa, tuweeyo ebiri? – Nnawandagala ne kirumirampuyibbiri

24. Omusomesa omuzungu eyayigiriza Ssekabaka Daudi Chwa II olungereza yali ani? – JCR Sturock

25. Mu muzannyo gw’okubonga enje mulimu kyebayita Kiddu, kye ki? – Kiddu y’enje eba ekubiddwa neeva ku lubongo

26. Olugero: Mpaawo atabukuttira – Ne nnazaalawo abukuttira

27. Kkoyi kkoyi…Enjuba erya ddi ebiwata? –  Kawungeezi

28. Ssinga owulira Omuganda ng’agamba nti Omwenge gwajadde – kitegeeza nti omwenge gwabadde mungi nnyo, abanywi negubalemerawo

29. Ekisoko, Okuzza erinnya kitegeeza ki? –  Omuntu okugenda awantu n’afiirayo, nebamuziikayo

30. Mu lulimi oludda ku gonja mulimu kyebayita Effa mpewo, effa mpewo kyeki? – Kyekiwagu kya gonja ekibeerako omunwe gwa gonja gumu naddala nga kyangabo

31. Kabaka ki eyakazibwako erinnya Kutta kulimu ki? – Muteesa I

32. Tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo kisiraani – Ekikuta ky’ekikajjo ekirondeddwa mu kkubo n’omuntu okubeera n’ekifeene

33. Okukwasa ekyennyanja ku mmasuka kisoko, kitegeeza ki? –  Ekintu ekitasoboka

34. Abantu nabo Omuganda abaawulamu emitendera, Omuntu gwebayita Kawene yaaba atya? –  Ye muntu eyeeyisa obubi eri bantu banne

35. Olugero, Tekayira – kavunaana muwendo

36. Mu byayambalwanga ab’edda mwabangamu empogo, empogo kye ki? – Byebintu ebyayambalwanga ku mikono nga babikola mu masanga naye nga byamasanda

37. Omuntu gwebagamba nti yajja na Ngalabi yaba atya? – Yooyo gwebaagabana oluvannyuma lw’okwabya olumbe

38. Waliwo Kabaka eyakisa omukono oluvannyuma lw’okulwala obulwadde obwamukazaako oludda olumu, Kabaka ki oyo? –  Kabaka Kamaanya

39. Mu ssaayansi w’abaganda, kisoboka okumanya nti omwana awezezza emyaka musanvu, akimanya atya? – Omwana ayisa omukono ku mutwe neyeekwata ku kukutu

40. Ab’eddira engabi ennyunga, akabbiro kaabwe kyeki? – Kakumirizi

41. Mpola embuzi ndikuwa ente kitegeeza ki? – Okusuubiza ebitasoboka kutuukuirizibwa

42. Olugero: Omwavu bwatunda talaba agula –  ate bwagula talaba atunda

43. Omuntu gwebagamba nti asaabulula n’eriri mu kamwa? – Ye muntu anyumya ennyo nga balya

44. Okuseruggana kitegeeza ki? –  Omuntu atambula ennyo, adda eno adda eri

45. Kikoyo lyerimu ku mannya agatuumibwa abaana abalenzi, kitegeeza ki mu lbulimi? – Ejjuuni eryanikiddwa nerikala

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda
  • Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde
  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe
  • Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024
  • Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -