Mu program Entanda ya Buganda eya nga 28 November,2023.ku Cbs 88.8 abamegganyi; Ndawula Patrick eyafunye obugoba 26 ne Kiberu Kizito Kamya eyafunye obugoba 24 baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Nanteza Grace eyafunye obugoba 10 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda.
1. Omukiise w’Olukiiko lwa Buganda olukulu eyafudde ssabbiiti ewedde yaziikiddwa ku kyalo ki? – Maya
2. Mpa amakulu amakusike ag’olugero: Bwolaba omukulu afungizza ng’omanya nti kaagoba kaamaanyi – Bwolaba omuntu yeeyunira ekintu omanya nti kirina omugaso
3. Emiwendo gino giteeke mu bigambo. 1331003 – Akakadde kamu mu emitwalo asatu mu esatu mu lukumi mu ssatu
4. Mpa emigaso ebiri egy’ebyobuwangwa-. Bituyamba okumanyagana n’okutugatta mu bika era bituyamba okukuza olulimi lwaffe
5. Amakulu g’ekisoko: Okukulukuta omwoyo – Okusaalirwa
6. Ani yawandiika ekitabo Tutontome mpola? – Thomas Kagera
7. Omutaka akwata empeewo ennamu Kabaka gyasookera ddala okuyigga yeddira ki? – Nseenene
8. Kizira okukwata mu kiseke kya kizibwe wo, kiki ekyagendererwa mu muzizo guno? – Okuziyiza abaana obutasobya wakati w’abenganda
9. Ssabbiiti ewedde waliwo omukiise w’Olukiiko lwa Buganda eyafudde, mpaayo amannya ge asatu – Owek. Joyce Ronvincer Mpanga
10. Amakulu g’olugero: Embuga terimba – Tusaana okussa ekitiibwa mu bakulembeze
11. Emiwendo gisse mu bigambo 551,103 – Emitwalo ataano mu etaano mu lukumi mu kikumi mu ssatu
12. Mpaayo ebintu bibiri ebireeta obuwangwa okukyuka? – Eddiini engwira n’abantu abaamawanga amalala abajja mu Buganda
13. Okuba n’essanyu ery’enfiira kisoko kitegeeza ki? – Omuntu okufuna essanyu ate amangu ddala n’afuna ennaku
14. Ani yawandiika ekitabo Abaganda ab’edda? – Dr Adam Kimala
15. Mwotassubi yoomu ku bakuuma Nnamulondo yeddira ki? – Nkima.l
16. Makulu ki agali ku bulombolombo obungi obuli ku mujjwa ne Kojjaawe? – Aleme kuboolebwa
17. Omukiise w’Olukiiko lwa Buganda olukulu eyafudde yabadde akiikirira kitundu ki? – Yabadde mukiise wa Ssaabasajja Kabaka
18. Amakulu g’olugero: Bwolaba emmese eruma omutwalo ng’obunnya ewezezza. – Bwolaba omuntu aliko kyakola omanya nti aliko kyeyeeyinula
19. Emiwendo gino giteeke mu bigambo. 121000/05 – Emitwalo kkumineebiri mu lukumi ne ssente ttaano
20. Mpaayo ebintu bibiri ebikyuse mu buwangwa bw’abaganda byomanyi mu Buganda? – Okusamira kusaanyiziddwawo n’okwalula abaana tekukyajjumbirwa
21. Okuwuga ennyanja ensiikuufu, kisoko kitegeeza ki? – Kugumira mu bizibu n’otaggwamu maanyi
22. Ani yawandiika ekitabo Kitikyamuwogo? – Kaddu Ssunda
23. Abakuba akadinda mu lubiri bava mu kika ki eky’abaganda? – Njovu
24. Makulu ki agali mu muzizo guno, abaana abakuze tebagenda mu kisenge kya bakadde babwe? – Kwewala kubalwaza buko
25. Enzikiza ekutte be? – Be Ppo
26. Mu muzannyo gw’okuwuga okwennono mulimu ekigambo Omukaya, kitegeeza ki? – Omuwuzi nnakinku
27. Mu mpisa enganda wasimbwawo eddagala nga lyakugema babbi, liweebwa linnya ki? – Omuwambo
28. Olugero: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali
29. Nnamalere aliko obulwadde bweyajjanjabanga, era bwamuyatiikiriza nnyo, bulwadde ki? – Kawumpuli
30. Omuwala bwafumbirwa gyafumbiddwa tafunayo luganda, afunayo ki? – Lulubuna
31. Olusaka lwa Nnamasole wa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II lusangibwa wa? – Bbumbu Kyaddondo
32. Ku lubiri lw’e Mengo kuliko omuzigo ogutunudde e Kibuye, Omukuumi waagwo aweebwa linnya ki? – Ssaabagabo
33. Enju gyosookerako ng’oyingira mu Masiro ga Ssekabaka Muteesa I eweebwa linnya ki? – Bujjabukula
34. Amakulu g’ekigambo okufuuwa nga weesiga ku ebyo byokka ebirina amakulu amaweeweevu mu matu g’omuganda – Okujjula kwekintu n’okukuma mu Kyoto
35. Olugero: Genkanyenkanye – Y’amala atoma
36. Oluusi embidde bagiyubuluzaamu ebitundu bibiri, Omuganda ebitundu yabiwa linnya ki? – Empagala
37. Enkofu tezibuuka, zikola ki? – Zibuuka bibanda
38. Mugoziita bwaba ayogereza omukazi, Kabaka n’akola ki? – Kabaka n’alaalira
39. Mu mpisa z’okwabya olumbe mubaamu ebigambo bino, Kaaba mukaddewo yafa. Ebigambo ebyo ani abyogera? – Jjajja Omukazi azaala taata
40. Mu muzannyo gw’omweso mubaamu empiki, empiki ezo ziba mmeka awamu? – 64
41. Okusenya ku kintu kisoko, kitegeeza ki – Okulyako akatono ekintu nekisigalawo kinene
42. Omunnyo tegukaawa, gukolaki? – Gutungununa
43. Olugero: Kaasammeeme – ng’ekirega ku lukakaba.
44. Ani akuba engoma Ggwanga mujje? – Omuntu yenna aba atuukiddwako obuzibu
45. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo olwala – Olwala oluli ku ngalo n’ewansi w’ekitimba nga kitegeddwa.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K