Abamegganyi; Bukenya Francis eyafunye obugoba 22 ne Nnassiwa Prossy eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Ssemmanda Joel eyafunye obugoba 14 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda nga 01 December,2033
1. Kabaka bweyali agenda okukuba enkanamu yatwalira bazadde ba mukazi we ebirabo. Yatwalira bazadde b’omuzaana endaalira
2. Amakulu g’olugero. Yogera byenjogera lwoliwangaaza amatu go – Olina okuwa abakusinga ekitiibwa
3. Ani yawandiika ekitabo Guluma yaguzza – Yozefu Ndawula
4. Emikolo egy’ennono egikolebwa nga tweyambisa magi – Bwebaba banaatambuza omulambo, gagabulwa emisambwa
5. Omuntu bwayambala n’anyuma tumwogerako nti afuuse omutaka w’o Mukimwanyi., yaani? – Mwambala butonnya
6. Muteesa nga tannalya ngoma yamala ebbanga ng’abeera mu kisaakaate ky’Omwami, Ani? – Stanslus Mugwanya
7. Amakulu g’ekigambo embwa – Obuwuka obubeera mu mmwanyi n’ensolo
8. Obote yalumba olubiri lwa Muteesa nga 24 May 1966, waakayitawo emyaka emeka? – 57
9. Tereeza Sentensi, Embuga ya Kabaka Mutebi II eri Mengo – Olubiri lwa Kabaka Mutebi luli Mengo
10. Amakulu g’olugero. Akabwa keweeyolera kekakuluma enteega – Omuntu gwoyambye asobola okukuyisa obubi
11. Ani yawandiika ekitabo Ndikumma Okulya? – SK Mpalanyi
12. Emikolo gy’Abaganda ebiri okutabula nkoko – Okusengula omufu, Okwanjula n’okwanjulwa
13. Bwetugamba nti Mugoziita yafuuka w’e Bbembe tuba tutegeeza nti Mubbi, yaani? – Musikula
14. Omwami eyalina ekisaakaate omwabeerako omulangira Muteesa nga tannalya Ngoma era nga yoomu kubaakuza Kabaka Chwa II, omwami oyo yalina bukulu ki obulala ku Michwa II? – Yali mulamuzi
15. Amakulu g’ekigambo akavangata? – Oluyoola lw’obutiko oba ssente ennyingi
16. Kabaka Muteesa II yava mu buwanganguse mu 1955, waakayita emyaka emeka? – 68
17. Tereeza ssentensi, Nsanze abakuumi b’enzigi z’olubiri – Nsanze abaggazi b’olubiri
18. Amakulu g’olugero. Asamirira amaddu ayigga mbogo – Lutulabula okwagala ennyo ebintu
19. Ani yawandiika ekitabo Gwolulambuza – Kivumbi Bantubalamu
20. Enkoko eyalujumba efaanana etya? – Enkoko empanga emyufu erimu ebiddugavu
21. Ebintu okubiteeka ku w’e Mbuule kisoko, ow’e Mbuule yaani? – Ssezinnyo
22. Ekisaakaate Kabaka Muteesa II gyeyabeera okumala akabanga kyali ku mutala ki? – Bukeerere
23. Amakulu g’ekigambo enjole – Ekinywa ky’essubi n’omubiri gwa Kabaka ng’aseeredde
24. Uganda yasooka okutegeka olukungaana lwa OAU mu 1975, waakayita emyaka emeka? – 48
25. Omusika omusajja okwasibwa omuggo ogulaga obuyinza bwe, guweebwa linnya ki? – Tonjoogera mwange
26. Enjala z’omuntu ku ntobo zaazo kubaako okuntu obulinga obwetooloovu, buweebwa linnya ki? – Ngo
27. Olugero: Owennimi alaba – Ekimutta kuwaayira
28. Oluusi emisuwa giyinza okutandika okuluma nnyini gyo, kiweebwa linnya ki? – Emiziga
29. Erinnya eddala eriweebwa kasikonda? – Akabakiro
30. Tereeza ssentensi. Ekiryo kyange kitandise okussaako – Kitandise okusuula
31. Olusaka lwa Nnamasole Mutebi lusangibwa ku kyalo ki? – Lukuli
32. Ekika ky’Abaganda omuva omufuuyi w’ekkondeere lya Kabaka? – Kkobe
33. Nnamugala linnya ly’Abalangira wano mu Buganda, tuweeyo amakulu g’elinnya eryo eddala – N’ekinyonyi ekirya empafu
34. Weetegereze olugero, Gafuluuta negatawuluguma, Amaki? – Agasege
35. Waliwo Kabaka abantu gwebaakekkezanga nga basala ku linnya lye nti Ssaaba – Ssekabaka Daudi Cchwa II
36. Erinnya eddala eritegeeza entuuyo eziva mu muntu – Endezi
37. Obutaka obukulu obw’ekika ky’Envuma busangibwa ku kyalo ki? – Kawempe Kyaddondo
38. Okwetuga kikolwa kibi nnyo era kivumirirwa wano mu Buganda, Omulambo gw’omuntu eyeetuze guweebwa linnya ki? – Omutuggu
39. Mu ntabaalo ezedda bajjajjaffe zebaakolanga, mwabaangamu omusagga, omusagga kye ki? – Omuge gwebaasibanga ku mutwe
40. Mu lulimi oludda ku byamaguzi, mulimu ekigambo omutengeeto, omutengeeto kyeki? – Akatinko akabeera ku kyamaguzi ekipya
41. Empologoma ensajja esinga zinnaayo ekitiibwa eriko eddoboozi ly’ekola , kimpe – Okuwuluguma
42. Olugero. Ekituulirizi – kimala enku n’amazzi
43. Waliwo ensolo gyebagamba niti eyinza okuwunyiriza amazzi gyegali nga gali mu bbanga lya mmayiro nga ssatu, nsolo ki? – Njovu
44. Omuweesi bwakukukolera akambe, omuwa empeera, eweebwa linnya ki? – Omukimba
45. Ani akuba engoma Ssaagalaagalamidde? – Omwami w’ekyalo.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K