Mu program Entanda ya Buganda nga 14 November ,2024 ku 88.8 Ey’obujjajja ne CBS FM UG OFFICIAL CHANNEL ku youtube, abamegganyi Kasajjakaaliwano eyafunye obubonero 28 ne Nsobya George eyafunye 16 baasuumusiddwa okugenda mu lumeggana oluddako ate Ssekatawa Cyprus eyafunye obugoba 10 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Wefuule ssentebe w’ekyalo otegeeze abatuuze emize egyefuze ekitundu kyokulemlembera? Obubbi, okukozesa ebiragallagala, obwenzi n’obwangalo bunani.
2. Olugero: Ssekkadde eryali ezzinyi…. Olirabira ku kubendabenda.
3. Obwoya bw’omunnyindo Omuganda yabuwa linnya ki? …..Ensowerezi.
4. Oyawula otya olubugo lwa Kinene ku lubugo lw’empewo endala…….Olwa Kinene luba luddugavu.
5. Mu mpisa z’olutabaalo mwabangamu abasajja abaatabaalanga, tuweeyo ba mirundi ebiri……. Abasajja abataalinanga bakyala n’abasajja abaali baatomerwanga endiga.
6. Omwami ayitibwa Omutuba omuto ogwa Buganda afuga ssaza ki? …….Buddu.
7. Ekisoko Okufuula obugere kitegeeza ki?…. Okukudaalira omuntu.
8. Nnamasole wa Kabaka ow’e Kasengejje mu Busiro….. Ndwaddeewazibwa.
9. Ensonga bbiri eziviiriddeko empisa z’abaana okwonooneka…… Obulagajjavu bw’abazadde n’omutimbagano.
10. Olugero: Omusango binjanjaalo… Obikkuta kiro.
11. Obwoya bw’omuntu obw’omumatu buweebwa linnya ki? …..Enjoyamatu.
12. Olubugo luyitibwa ddi ekibu, tuwe embeera bbiri. …….Ssinga tuba twogera kukyanikwako taba, oba Ssinga lusibwa Nnamwandu.
13. Obukulu bw’evvu bw’ekyoto Ggombololola obwekuusa ku lutabaalo….. Lisiigibwa abagenda mu lutabaalo.
14. Omwami akwata akasaale ka Kabaka ng’agenda okutabaala, Omwami oyo afuga ssaza ki?….. Mawokota.
15. Amakulu g’ekisoko, Okumalako abantu ebyewungula……. Okukola ekintu mu ngeri abantu gyebabadde batasuubira naye nga mbi.
16. Erinnya lya Nnamasole w’e Wamala mu Busiro……. Nnakkazi.
17. Ssentebe wa Bulungi bwansi, okubiriza otya abantu okwenyigira mu bulungibwansi……. Bannange mube bayonyo, mugogole enzizi muwone endwadde.
18. Olugero: Nswanjere… Tebulamu jjinja.
19. Abasajja abamu balina obwoya mu kifuba, buweebwa linnya ki? ……Kabambaggulu.
20. Emigaso gy’olubugo ebiri egy’ennono….. Okuziikamu omufu n’okusumika mu kiseera ky’okussaako omusika.
21. Kabaka agabirawa olutabaalo ku lubiri? …… Ku Kyoto Ggombolola.
22. Omwami w’essaza akuuma amayembe ga Kabaka afuga ssaza ki? ……. Katambala.
23. Amakulu g’ekisoko. Okuba nkata nnyigwa wabiri. ……..Omuntu okuba mu bizibu oluuyi n’oluuyi.
24. Xxxxxx
25. Okukuba omuntu eriiso kisoko kitegeeza ki?…….Okulabula omuntu bwaba alina ensobi gyakoze.
26. Ensimbi enganda erimu ekituli eweebwa linnya ki eddala? …….Engezi oba ennyami.
27. Omuntu gwebagamba nti engaanga yamuzimba ku mumwa yaba ataya? …..Ye muntu buli nsonga ng’agigaana.
28. Olugero: Omwogezi mutambuze…… Bwakoowa ng’awummula.
29. Ekisolo kino nga kinaatera okutemya kisooka kwekweka, ki? …….Kikami.
30. Ensolo bwetoola ekitimba nnyini kitimba bwagifumita alayira atya? ….. Ku lwa Kabaka.
31. Nnamasole waaziikwa wayitibwa watya? ….. Obuggyo.
32. Ekiti okuleegerwa eddiba kilyoke kifuuke engalabi kiweebwa linnya ki? ……Omugalala.
33. Omwana azaalibwa nga taliiko mikono wadde amagulu, aweebwa linnya ki?…… Kibumbuli.
34. Olugero: Obulungi siddya…Ssinga ekkajjo ly’enjovu liwangiza muzibu.
35. Oluusi enswa ziyinza okukwata olunyirri lumu nezibuuka nga zikwata luuyi lulala, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki?…… Kukuuluula.
36. Erinnya ly’omumbowa eyayitanga n’olufuuzi……….Ssenkoole.
37. Kkoyi kkoyi nnina mukazi wange yasimba ekimera ekitali kya kuno. …….Akeeyeeyo.
38. Obunnya obubeera ku matama g’abantu abamu buweebwa linnya ki? …….Obubya.
39. Endoddo yavudde ku muti waggulu neyeerindiggula ku ttaka be……. Ddu.
40. Ekisoko okutema ku lw’e Namuganga kisoko, Namuganga kisangibwawa?……. Kyaggwe.
41. Abooluganda abataagalana babalabira ku butagatta bino, biriwa?…… Tebagatta ndeku n’olujjuliro.
42. Olugero: Nnakatindigiri….… Ng’omuzaana adduka obuko.
43. Kinyonyi ki Abaganda kyeboogeza ebigambo bino? ……Ettutuma.
44. Omuganda omunnyo gweyajjanga mu busa yagutuuma linnya ki?…… Ogw’ensero.
45. Kiki ekiwanuuzibwa ku bantu abalina obunnya ku matama?…… Kiwanuuzibwa nti baba balungi nnyo, mbu era bakaddiwa mangu bagwa mangu embugubugu.
Bitegekeddwa Kamulegeya Achileo K