Mu program Entanda ya Buganda eya Wednesday nga 09 october,2024 ku CBSFM 88.8 abamegganyi; Bugembe Nassur eyafunye obugoba 30 ne Ntaate Aloysius eyafunye obugoba 9 baasuumusiddwa okweyongerayo mu mutendera oguddako ate Omumegganyi Kyeyune Livingstone eyafunye obugoba 7, yawanduse.
Biibino ebibuuzo ebyabaddemu;
1. Olugero: Okulaba ebinene sikuwangaala… Abaalaba ku Bukya bandiwangadde.
2. Tuweeyo omugaso gumu ogwa jjajja omukazii azaala taata mu kwabya olumbe. Y’asiba bamulekwa amafuvu mu kwabya olumbe lwa kitaabwe.
3. Emirimu ebiri egy’omujjwa mu bulamu obwabulijjo. Okuggya ebibamba mu luggya lwa kkojjaawe, Omujjwa y’agema enkuba n’okuggyawo ebyawongo mu luggya lwa kkojjaawe.
4. Ani yawandiika akatabo Gulama w’Oluganda Omusengejje? Dan Kyagaba.
5. Amakulu g’erinnya eriweebwa omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaggwe. Kubanga lye ssaza ery’emmanju wa Buganda.
6. Kabaka Kiggala Enju ye yagituuma linnya ki? Nkokonjero.
7. Empandiika y’ekigambo NSWENKE. NSWE-NKE
8. Ekikolwa ky’omuntu eyeebase okukulukusa amalusu kiweebwa linnya ki? Kugeregeza.
9. Olugero: Olukuba eriiso… Luleka nnyindo kufeesa.
10. Obukulu bw’enkejje mu kwabya Olumbe lw’Omuganda. Yeesiibulira ddala omuntu eyafa.
11. Emirimu ebiri egikolebwa omujjwa mu mbeera ey’essanyu. Akwata omulyango nga babadde bafulumya nnyina ku mukolo ogw’embaga ne bamuwa ssente.
12. Omulya mmere kkoyi, ani yawandiika ekitabo ekyo? Dr. Jackson Kizza Mukasa.
13. Amakulu g’erinnya eriweebwa Omwami wa Kabaka afuga essaza Bulemeezi, Koma awo.
14. Enju ya Kabaka Ttembo yagituuma linnya ki?Kiryokyembi.
15. Empandiika y’ekigambo MUSWASWATO. Mu swa swa to
16. Ekigambo okujoojiina kitegeeza ki? Muntu kutambulira mu nkuba nga mulimu ebisooto.
17. Olugero: Omugenyi omuyite ajja avunja, Lukongwa yavunja Bbira.
18. Erinnya ly’akayimba abajjwa kebayimba nga bakooza. Mbogo.
19. Emirimu ebiri egy’omujjwa mu kibi. Y’akuma ogwoto ewa Kojjaawe era y’asala omugwa ssinga kkojjaawe abeera yeetuze.
20. Ani yawandiika ekitabo Oluganda lwa leero? Prof Masagazi Masaazi.
21. Ennono y’erinnya eriweebwa omwami afuga essaza Busiro. Yakuuma ku Ntebe ya Kabaka era Okumujjukira)
22. Enju ya Kabaka Kiyimba yagituuma linnya ki? Kkonkomebbi.
23. Empandiika y’erinnya NSWANJERE. Nswa nje re.
24. Amakulu g’ekigambo Busajjabwankuba. Amazzi agalemaga ku lwazi n’amazzi agalegama mu mpompogoma y’omuti.
25. Ekisoko Okukuuta akayegula kitegeeza ki? Kitegeeza omukyala okusanyukira bba n’amunaaza ng’avudde mu lutabaalo.
26. Etteeka ekkulu eridda ku kusima ebbumba. Lisimwa lwaggulo.
27. Olugero: Ekigaanira omuddu Bbwa lya mu mutwe.
28. Omuntu asumika abalangira n’abambejja ava mu kika ki? Ava mu kika kya Lugave.
29. Ekikolwa ekyokujja ezimu ku ndu y’ekitooke kiweebwa linnya ki? Kuttira.
30. Okusazisa mu gookya kisoko, kitegeeza ki? Abantu ababiri abakolagana ennyo.
31. Mu bukulembeze bw’ekika bwova ku nnyumba ng’odda waggulu odda ku ki? Luggya.
32. Obutabi okubeera ebimuli by’empande buweebwa linnya ki? Obuliralira.
33. Abakomazi Omukomago basinga kugukola mu muzzanganda, Lwaki? Kubanga omuti ogwo mugonvu.
34. Emigaso ebiri egy’obutiko mu buwangwa bw’Abaganda, Bukozesebwa mu kwalula abaana, bw’osanga omusezi babukufumbira.
35. Olugero: Bakiwadde munnange… Bwebuggya.
36. Ejjinja abaweesi kwebatemera ebyuma liweebwa linnya ki? Oluyijja.
37. Ekisoko Okuwa omuntu omutemero kitegeeza ki? Kuteekateeka omuntu naddala ng’akyali muto.
38. Muzizo ki omukulu ogudda ku ndagala zebayunjidde ku kitooke? Tezisaaniika mmere.
39. Ba kika ki abavunaanyizibwa ku Kyoto ggombolola mu Lubiri? Nnakinsige.
40. Okukuba ku muntu eky’omulubaale kisoko, kyekiki? Ekimunye.
41. Omwenge oguyitibwa obugonja gweguba gutya? Gwemwenge gwa Mmandwa gwanywako.
42. Olugero: Ekisuula entabi… Kyekikuwa entindira.
43. Ani kitaawe wa Kibuuka Omumbaale? Wannema.
44. Ssekabaka Nnakibinge yabulira mu lutabaalo, enjole ye yasangibwa wa? Mu kinnya.
45. Ebinyonyi omuganda kwamanyira nti enseenene zinaatera okugwa. Ebiranga-nseenene.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K