Abamegganyi mu Program Entanda ya Buganda ku 88.8 Ey’obujjajja eya nga 18 November 2024, entuuyo baazisazizza bibatu olw’ebibuuzo ebyabadde ebikambwe.
Miyingo Misearch eyafunye obugoba 24 ne Sserwadda Samuel eyafunye obugoba 18 baasuumusiddwa, ate Balunginsiiti Stevens eyafunye obugoba 17 yawandukidde mu maanyi.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Ekitongole ekiwuliriza mu Buganda kyakolanga mulimu ki?……. Kyakolanga omulimu gwakuketta n’okusaka amawulire.
2. Ennyonza kibala naye kifaanana kitya? …….. Ennyonza zibalira mu kibira ku butittiriri mu langi ya kakobe, ku katittiriri ako kubaako amaggwa.
3. Kizira okutuula ku kinu, kiki akiwanuuzibwa ku nsonga eno. ….. Kigambibwa nti atudde ku kino asobola okukyuka ekikula Kye.
4. Olugero: Nnyama nsava ……. Terwa ku mudaala.
5. Mu nnono ya Buganda omukazi takwata ngabo kubanga tatabaala, tubuulire embeera emu omukazi lwakkirizibwa okukwata engabo…….. Ssinga aba akutte ekibbo ng’agenda mu nnimiro.olwo ekibbo kyekifuuka engabo
6. Ani yawandiika ekitabo Ennono n’enkulaakulana ya Buganda?…. Br. Tarsis Nsobya.
7. Ekisoko: Okujuliza ataliiwo ……Omuntu okumma munne ekintu.
8. Owek. Stanislaus Mugwanya owa Buganda yali yeddira ki?…….. Butiko.
9. Ekigoowa kyekimu ku bitongole ebyabeera nga mu Buganda, kyakolanga mulimu ki?…… Kulaga Kabaka ssanyu.
10. Enkolimbo zifaanana zitya?…… Zibala ku butittiriri buwanvuyirivu okusingako ku mujaaja naye nga obukoola bwazo busiiwuukirivu bubaamu empeke eziringa ez’akawo.
11. Omulyango gw’enju y’omuganda gulina muzizo ki?…… Kizira okutuula mu mulyango.
12. Olugero: Okulaba ebinene sikuwangaala…… Abaalaba Bukya bandiwangadde.
13. Omunwe gwa lumonde ogwekweka mu lwaliiro guyitibwa gutya? ……Enkukumu.
14. Omuwandiisi w’ekitabo Ssekabaka eyeerabirwa …….Kivumbi Bantubalamu.
15. Ekisoko. Omuntu okujja nga bimwokya…… Omuntu ow’olugambo ajja n’ayogera byabadde tateekeddwa kwogera nga nebaagamba tebyabyagala.
16. Sir Apollo Kaggwa yali yeddira ki? …… Nseenene.
17. Ekitongole ekisalosalo mu lubiri kyakolanga mulimu ki? …….Okulabirira ennimiro za Kabaka n’okutema ensalosalo mu birime byonna ebyalimirwanga mu lubiri.
18. Empande zifaanana zitya? ……Empande zifaanana ng’ebinyeebwa naye nga munda zifaanana ng’ebijanjaalo.
19. Omuganda omuntu gwayita omuluma mpagi aba afaanana atya?…… Omuntu omubi ennyo eri banne nga bamutya ate nga talina kalungi kaabagaliza.
20. Olugero: Nnanyini kaze….… Y’akeeyogerera.
21. Akawuka akatawaanya ennyo obusujju obuto nga bwakava ku kimuli? …..Kalalankoma.
22. Ani yawandiika ekitabo Bandogera bwereere?…… Prisca Nakitto.
23. Amakulu g’ekisoko Okusala entotto…….. Okulemererwa okuvvuunuka ekizibu.
24. Owek Zaakalia Kisingiri mu Michwa yali yeddira ki?……… Mmamba Kakoboza.
25. Essaza mu Buganda omuli ekiggwa kya Katonda? ……Kyaggwe.
26. Okutuula akatundubiiru kitegeeza ki? ….. Okutuula mu kifo nga toseguka.
27. Olugero: Mayanja assa bigere……. Ng’omutwe guli Sseguku.
28. Omuganda kiki kyayita ennyigwa wabiri?…. Enkata.
29. Abaganda abalina ekyuma kyebakozesa mu nnono okuwummula ekituli mu muti, baakiwa linnya ki? …….Omulumyo.
30. Omwana aggalawo olubu lw’abalongo alina amannya ag’enjawulo, tuweeyo abiri…….. Kitooke ne Kiteerera.
31. Ekita ekitatwalwa ku buko. …….Ekita ekya Nkote.
32. Omuntu akwatiddwa empewo ya Sserukeera omulabira ku ki? ……Okukootakoota n’okunywa omwenge n’atatamiira.
33. Olugero: Eziva okumu zembiro… Nga gwoyagala y’asigadde ennyuma.
34. Eddoboozi empalabwa lyekola nga yeekaamwanye liyitibwa litya? ………Okuwuluguma.
35. Omuganda omuntu gwayita omulima nsiisa yaatya?……… Omukyala omulungi ennyo ng’abaza n’emmere.
36. Ettabi eriggyibwa ku mutuba okulisimba liweebwa linnya ki? ……..Ensimbo.
37. Ebita nga bisibiddwa wamu biweebwa linnya ki? ………Omugamba.
38. Kkoyikkoyi nnina mukazi wange ye n’abaana be bonna bazungu…….. Ettungulu.
39. Okusaasaanya ebintu byonna ebiregamamu amazzi kiyamba kitya okuziyiza omusujja gw’ensiri………kiyamba kubanga ensiri ziba tezirina wezibiikira.
40. Munna Uganda omuddugavu eyasookera ddala okubeera gavana wa banka ya Uganda?…… Joseph Mubiru.
41. Abaganda bawanuuza ki ku kanyonyi akayitibwa Nnamunye okugwa ku nju……. Kaba kazze kubala bantu abali mu nju omwo.
42. Olugero: Kigulenkumbi kiddawo….. ng’eyagigula w’amaanyi.
43. Omuntu ayitibwa Katabulansimo yaabeera atya? ……Omuntu alima ennyo ate ng’abaza nnyo emmere.
44. Omukulu w’abaggazi b’emizigo gy’okulubiri ayitibwa atya? ……Mulamba.
45. Eyaakusinze ya Kawungu, ekyo Kisoko,…eya Kawungu eki? ….Mbuga.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K