Mu program Entanda ya Buganda nga 13 November,2024 ku 88.8 Ey’obujjajja ne You Tube CBS FM UG, abamegganyi Kalule Godfry eyafunye obugoba 28 ne Ssaalongo Tumusiime Gerald eyafunye obugoba 20 baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako ate Ssewannyana Mathew eyafunye obugoba 18 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono mulimu ekigambo Omukatawadda, kitegeeza ki?…. Omuzimu omukadde.
2. Bwoba nga ggwe okwatibwako eby’obulamu mu kitundu, oyinza otya obukuubira abatuuze ku bubonero bw’obulwadde bwa Mpox? ……..Okusiiyibwa omubiri n’okufuna ebitulututtu.
3. Erinnya eryawamu ery’ennono eriweebwa abakwasi b’enseene…….. Abalalu.
4. Ekigambo embuutu kikwanaganye n’ennyama…….. Ekiti kwebatemera ennyama.
5. Buzibu ki obuva mu kukwata amayenje?……. Oyinza okusima ekinnya n’osangamu omusota.
6. Ekikolwa kya kasooli okukala enviiri kiweebwa linnya ki? ……Okuzikiza.
7. Erinnya ery’obuntu erya Kaggo omwami afuga essaza Kyaddondo……. Owek. Ahmed Magandaazi.
8. Olugero: Agali awamu gegaluma ennyama…… Ow’amalibu akiina wa ngereka.
9. Mu mpewo z’Abaganda mulimu empewo emanyiddwa ennyo olw’okutuuyanya oyo gw’ekutte, mpewo ki? ……Mukasa.
10. Kuba ekifaananyi ng’oli musawo wa ku kyalo VHT tegeeza abatuuze engeri y’okukuumamu obuyonjo……… Musaawe omuddo ogubeetorodde, mubeere n’akatandaalo, ate ekikulu ennyo mubeere ne kaabuyonjo.
11. Ssinga omukazi akwatira bba enseenene, bba amwebaza atya? ………Amubuuka.
12. Ekigambo ekke kikwanaganye n’ennyama. Ke kawoowo k’enva z’ennyama enkalirireko.
13. Tuwe ebigambo abanganda byeboogeza ejjenje. Ag’emitala gajja.
14. Omutendera gwa kasooli oguyitibwa ekiryabaayi. ………Omutendera abantu nga batandise okusuna ku kasooli okulaba oba ng’akuze.
15. Erinnya ly’obuntu erya Ssebwana. …….Owek. Charles Kiberu Kisiriiza.
16. Amakulu ag’ebuziba ag’ekisoko Okusasula omuntu nga Ssuuna asasula abaziba…… Butamusasulira ddala.
17. Waliwo empewo ekwata omuntu n’emuwunyisa ng’afudde, mpewo ki?…… Kinene.
18. Oyinza otya okwangangamu obutabanguko mu maka. ……Nsaba abafumbo okuwuliziganya n’okwebuuza ku baasooka mu bufumbo n’okugumiikirizaganya mu nsobi.
19. Enseenene zitumbula zitya empisa y’ekizza nganda mu Buganda?….. Tezikwatibwa omu, azirabye akuba wuuli okuyita abalala.
20. Engeri Omuganda gyayinza okuziyizaamu ennyama ye okuvunda…….. Okukalirira n’okussaako omunnyo.
21. Lwaki abaganda ejjenje ekkazi baliyita essaabi? ……..Kubanga liba linyirira nnyo ku magulu n’olubuto.
22. Kasooli yeetuga atya? ………Ssinga oba omususa omunwe negwemenyamu.
23. Erinnya ery’Obuntu erya Kkangaawo………. Owek. Ronald Mulondo.
24. Amakulu ag’ezuziba ag’ekisoko Okuba n’erya Ali Fuleedi…… Okuba omubbi.
25. Mu bikozesebwa by’Omuganda mulimu Enkwedde, oli bwagikutuma oleeta ki?……. Enkumbi ekaddiye.
26. Ekikolwa ky’okwokya omusito gw’ennyama ya Kabaka kiweebwa linnya ki?….. Kuwujja.
27. Olugero: Nnajjukiranga nenseka……..Nga tebakigambye ye.
28. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okukola banno ekya Mulondo? …….Okukola munno ekibi.
29. Ekika ky’emmere kino bwekifumbibwa tekigaga kikala bukazi kyekiriwa? …..Ekikongo.
30. Ekika ky’ekisolo bwekikaabira mu nsiko olowooza nti mbuzi, kyekiriwa? …….Akayoga.
31. Omukyala agambibwa okuzaala emigga Mayanja……… Omumbejja Nnazibanja.
32. Omukyala ow’Embogo akongojjebwa, yaani? ……… Nnanzigu.
33. Embuzi erina ebyoya ebingi ennyo ku ddiba lyayo eweebwa linnya ki? …….Eya zzigeye.
34. Omuganda bwagamba nti omuntu oyo yafaafangala, aba ategeezaaki? ……Omusajja eyeefumbiza ew’omukazi.
35. Essaza lya Buganda limu omuli embiri za Ssaabasajja nga nnyingi okusinga mu masaza amalala. ……..Kyaddondo.
36. Okufuuka Omutaka w’Entebettebe kitegeeza ki?…….. Okutuula ng’obadde tonnaweebwa ntebe.
37. Olugero: Ebyakuno tebiisoboke… Nga Bamuwaayirizza mukazi mukadde.
38. Ebikooyi abakazi abaganda byebasibira mu ggomesi byaweebwa amannya agabyawula, tuweeyo asatu? …… Ssaali, Ssebayira ne bbula.
39. Embuga ya Ssaabaganzi eweebwa linnya ki? ……..Buganziganzi.
40. Olugero: Ba kale boogere …Nga bamugambye byayagala.
41. Ssente okukuyita ku nkuuli kisoko, kitegeeza ki? …….Okukola emirimu nga tebakusasula.
42. Kabaka ki eyazimba enju Bulange e Mmengo?…….. Ssekabaka Muteesa II
43. Omuntu agenda okusoggola lumonde yeetaaga kuba naki?……. Kibbo n’enkumbi.
44. Omusajja omwavu ennyo bamugeeraagenya ddi ku byoya by’enkoko……. Aba talina kyasobola kuwaayo ng’asobola kuwaayo kyoya kyokka.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K