Mu Ntanda ya Buganda nga 19 November,2024 ku 88.8.m Abamegganyi; Basajjamivule John eyafunye obugoba 22 ne Kyeyune Richard ow’e 18 baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako ogwa program Entanda ya Buganda, ate Nsubuga Hassan eyafunye obugoba 7 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Erinnya lya kitaawe wa Nnamasole wa Buganda eyasookera ddala……. Omutaka Mugalula.
2. Okusiba ekkira kitegeeza ki?……. Okusemba mu kintu. (Okukoobera)
3. Muwalo yamaliriza ebigezo bya PLE Mubuulirure engeri gyanaayita mu luwummula.
4. Omuddo ogumera mu kifo awaabeeranga ente. ……Kalandalugo
5. Olugero: Nkuwawaabidde…… Takuviirako awo.
6. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ennyonza…… Ekinyonyi n’ekibala.
7. Ani yawandiika ekitabo Ensiitaano mu lubiri? .. ..Ssennyondo William.
8. Kabaka Muteesa II mu kiseera weyawangangusizirwa, yalina Katikkiro ki?…. Owek. Paul Kavuma Nail.
9. Erinnya lya Kabaka eyatandikirwako empisa y’okukongojja ba Kabaka ba Buganda? ……Omulangira Kalemeera.
10. Amakulu ag’omunda ag’ekisoko, Okusigala mu malye……. Okusigala mu bizibu.
11. Obwetaavu bw’essimu bweyongedde, kale buulira mutabani wo obwetaavu bw’essimu zino. Xxxxxxxxxxxxx
12. Obuwuka abawala bwebalumisa ku nnywanto z’amabeere gaabwe mbu ganguwe okusuna. ………Enziiziiri.
13. Olugero: Nnyini kitimba…….Tasubwa nnyama.
14. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ekisubi……. Waliwo ekissibwa ku kyayi ate n’ekisubi ekitegeeza omusota.
15. Ani yawandiika ekitabo Omwoya gwa Buganda ogutafa?……..Bishop Ndawula Ssennyimba.
16. Ensonga eyaviirako okuwangangusa Ssekabaka Muteesa II. ……Yagaana okuwaayo ensi ye mu mukago gwa East Africa.
17. Erinnya lya kitaawe wa Kabaka eyayaniriza Abawalabu okujja mu Buganda…… Kamaanya e Kasengejje.
18. Omuntu bwagamba nti Mugooziita yatulika buta, otegeera ki? Nti yaseka mu ngeri eyakanga abantu.
19.Emitimbagano gifuuse ekizibu mu nkuza y’abaana, tegeeza omwanawo ebizibu bisatu ebiva mu nkozesa embi ey’emitimbagano. Xxxxxxxxxx
20. Waliwo ekimera ekifaana taaba kitera okumera awaayinza okubeera enju, Omuganda akiyita atya? …..Ssetaaba.
21. Olugero: Obutayala nnyama ku maaso……Enkoko kubiika mirannamiro.
22. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Akatiko. ….Waliwo akaliibwa n’ekika ky’emisomaali.
23. Omuwandiisi w’ekitabo Kulyennyingi ……MB Nsimbi.
24. Endagaano y’okuzza Ssekabaka Muteesa II, yakolerwa ludda wa? …..Namirembe.
25. Kkoyi kkoyi.. Nnina mukazi wange baamuwa okutwala omumuli ku kibuga, omukazi gwebaawa omumuli okugutwala mu kibuga yaani? …….Akawuka akayitibwa emmunyeenye.
26. Ekitole ky’ettooke ekitali kikoze kiweebwa linnya ki? ……Ekibego.
27. Waliwo omulimi byayita Ebisoboyo nga kidda ku birime byalima, ebisoboyo byebiki?….. Enkagga z’ebijanjaalo.
28. Olugero: Ekibula obuguzi……Kiddira nnyini kyo.
29. Okutereka ebintu byonna yadde ssente z’ofunye ng’amabikwa, kiba kibi, bwokikola kiba ki?….. Mbu ssente ezo bwozigatta mu z’osangiddwa nazo ziyinza okufuumuuka.
30. Eddiba ly’ente erijjiddwamu enkulo liyitibwa litya? ….Ekijagali.
31. Amannya asatu aga Namasole wa Ssekabaka Muteesa II….. Irene Drusila Nnamaganda.
32. Ejjanzi okusamba oluggi kisoko, kitegeeza ki? …..Okuzuukuka ekikeerezi okusinga nga bwoba wategese.
33. Waliwo Olubugo oluyitibwa Mukwatankwaya lweruliwa?….. Olubugo oluweebwa omusika omukyala.
34. Kkoyi kkoyi … nnina mukazi wange taggwebwako nkoko nsiru. …..Amagi g’enkoko.
35. Omuganda oluusi ajjanjaba endwadde ng’akozesa ekiwuubiiro, Ekiwuubiiro kyeki?…. Akasongezo k’ejjembe omusawo w’ekinnansi lyakozesa okulumika.
36. Obuliri bwa Nnakawere buweebwa linnya ki?…. Akaali.
37. Amannya asatu aga Nnamasole wa Kabaka Daudi Cchwa II? Everine Kulabako Maasombira.
38. Olugero: Lukande lwa nnyoko… Lukira olwa mukakitaawo olubikke.
39. Ekita ky’omwenge ekisibiddwamu oluyina ng’omuzingoonyo gusigadde bweru?…. Omanya nti gyebakitwala baafiiriddwa.
40. Okutta omusota ng’okozesa amagi….. Ogafumba negaggya negujja negugamira, negirinnya waggulu negugwa nga gwagala gaatike, waabula gyegukoma okugwa nga gufa.
41. Ebikere ebingi bwebikaaba, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki? …..Okwanyaaga.
42. Abantu nga bakoze amatama gaabwe gajjako obunnya, buweebwa linnya ki?…… Ensuulumbi.
43. Olugero: Abantu balamu masaayire…. Gagwa walime.
44. Akaana k’ekitooke ky’embidde kaweebwa linnya ki?….. Akaswasukwa.
45. Ekita bwebakissaamu amata ag’okusundamu omuzigo, kiweebwa linnya ki? …..Ekisaabo.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K