Abamegganyi; Bbanja Steven eyafunye obugoba 19 ne Ssempijja Nyansio eyafunye obugoba 17 mu lumeggana lw’Entanda ya Buganda nga 20 November,2024 ku 88.8 Ey’obujjajja, baasuumusiddwa okugenda ku mutendera oguddako, ate Ssennono John Baptist eyafunye obugoba 16 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’entanda;
1. Tuwe ennono y’ekigambo Ekisaato Kabaka Kimera kyajja kalyo……. Ekisaato kitegeeza eddiba lyeyajja yeesumise.
2. Ebintu bibiri ebiraga nti Omuganda yettanira nnyo obuyonjo……. Abeera ne kabuyonjo,ebintu omubeera amazzi, era n’akatandaalo okwanikwa ebintu.
3. Ebigambo “Omuguwa n’ekyambika “birina njawulo ki? ……Omuguwa gwegusiba ebintu ate ekyambika gwe mugwa omuntu gwakozesa okwetuga.
4. Bwetuba tusaasira Kabaka tugamba nti Gutusinze nnyo Ayi Beene, kirimu makulu ki? …… Kubanga ffe abantu ffe tuba n’obuvunaanyizibwa bw’okukuuma abantu be, kale bwebafa tuba tukuumye bubi.
5. Ssaabasumba ki owa Eklezia Katolika Omuganda eyasooka mu Uganda? …..Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka.
6. Ebintu bibiri ebiraga Omuganda nga bwassa ekitiibwa mu mufu….. Omuntu bwafa ateekebwateekebwa bulungu (okumugolola), n’okumusimira entaana era n’aziikibwa bulungi (tetusuulayo musuule) era tayogerwako kibi.
7. Olugero: Nawano lulyabirawo……. Nga lwa mwavu.
8. Ekitooke kiriko ekitundu kyebayita Ggalwe, kitundu ki ekyo?….. Ekyayi ekiba kikaddiyidde ku kitooke.
9. Erinnya ly’omuntu eyatemula Kabaka Kimera…… Omulangira Ttembo.
10. Engeri ssatu ez’ennono Omuganda zeyeeyambisa okwejjanjaba……. Akozesa ebikoola oba ebibajjo by’emiti n’abinywa, Ayinza okweyoteza oba okunuusa obugolo.
11. Enjawulo mu bigambo “Ekidaala n’oludaaladaala” ……Ekidaala kibeera mu mikolo egy’essanyu ate oludaaladaala lwelwo oluzimbibwa nga mwafiiriddwa.
12. Bwogenda mu Lubiri n’olamusa Ssaabasajja nti Kulungi Ayi Ssaabasajja? Ye Ssaabasajja akwanukula atya?…. Nti Kulungi.
13. Mufti Omuganda eyasookera ddala mu Uganda. ……..Sheikh Swaibu Ssemakula.
14. Akalombolombo akakulu akadda ku mafuvu gebasiba ba mulekwa. …….Gasalwa ku lubugo obubisse ku mufu.
15. Olugero: Eⴄⴄombo ennungi……… Ekwogeza ku mufu.
16. Erinnya ly’ekitooke ekimanyiddwa nga kojja w’olusuku…………………. Gonja.
17. Omutemu eyatemula Kabaka Kimera yamuttisa muggo, omuggo guweebwa linnya ki? …..Awakula ennume.
18. Omuganda akuuma atya eddagala lye nga teryonoonese okumala ebbanga ddene?….. Ayinza okulyanika, okukolamu ensaano oba oluusi erimu okulissaamu evvu.
19. Enjawulo wakati w’ebigambo Ejjirikiti n’ekiyirikiti. ……….Omuti oguliko amaggwa amampimpi lyejjirikiti okusuulwa embwa efudde ate Bwegusuulibwako embwa enfu gufuuka ekiyirikiti.
20. Bwetuba tulamusa Ssaabasajja tugamba nti Gusinze Ayi Beene. Omuki? ……………Omwaliiro.
21. Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Omuganda eyasookera ddala…………… Ssaabalabirizi Livingstone Mpalanyi Nkooyooyo.
22. Omwenge ogunywebwa oluvannyuma lw’okufa kwa nnyinimu guweebwa linnya ki? ……….Ogwessuumwa.
23. Olugero: Siyombera mikwano.………. Nga gweyakwana emitala gukaze.
24. Ekitooke ekivaako emmere kirina eriinya eryawamu kiweebwa linnya ki? ………………….Enkago.
25. Mu bintu ebikwasibwa omusika temubula muggo, kirina bukulu ki?…… Baba bamukwasa buyinza.
26. Ekimulu ky’ejjirikiti Omuganda yakiwa linnya ki? …………Njuba ya ttale.
27. Kizira okwasa enju ya bbumbuzi, bwokikola kiba ki? ………….Oba oyasaasanya nnyo ebintu.
28. Olugero: Weekiina ng’owerimu akiika embuga……….… Nti bakira omwami ayogera musimbye abiri.
29. Omwana omuwala bwazaalibwa aweebwa linnya ki?………………..Kawala.
30. Okusanga abantu mu ky’abalongo kisoko, ekyabalongo kiba kiki? Kibululu.
31. Erinnya ly’ekkubo erigenda ku Muteesa I Royal University e Masaka? …..Ssomero Road.
32. Omulimi ku nkya enkumbi ye asooka kugiyiwako mazzi, lwaki? ……..Omuyini gusobole okuzimba.
33. Abaganda bawanuuza nti kizira okutta omunya, bwogutta kiba ki? ……Nti bwogutta togenda mu ggulu.
34. Omuganda alina ekigambo kyebayita ekigaaga, kitegeeza ki?……….. Ekibego jjajja kyakoleza omuzzukulu.
35. Olugero: Weeyogeza ng’olwanoba luzadde…… Nti taba mwana sandizze.
36. Kiki Omuganda kyayita okuwanika olubuto olulimu omwana?……… Okukola eddagala olubuto ne lubula erwo ekiseera kyebaalugerera nerulabika.
37. Omuganda atangira atya kalalankoma okwonoona obusujju obuto………….. Abubikkako essaaniiko kalalankoma natabulaba.
38. Muteesa I Royal University Ettabi Ly’e Kampala lisangibwa ku kyalo ki?………… Kakeeka Mmengo.
39. Ekita ky’omwenge ekirimu oluyina kirina makulu ki?…………… Kitegeeza nti kiriko omuzizo.
40. Ebintu ebikulu bibiri ebiviirako ettaka okukulugguka……………… Obutassaamu nsalosalo n’okulirimaalima.
41. Olugero: Emmeeme eteebuuza……………. Efubutula eggambo.
42. Ekigambo kimu nga kitegeeza Okugalinnya gyegava…………… Kwefiiriza.
43. Kabaka ki eyaliwo nga bakola endagaano y’olwenda………………. Daudi Chwa.
44. Omwana alanga abalongo alina amannya ag’enjawulo agamutuumwa, tuweeyo abali, Kajjanannenge oba Kasowole.
45. Kkoyo kkoyi nnina mukazi wange bwalengera mu bbaasi alabamu bazungu bokka. Ppaasi erimu omuliro.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo. K