Ebibiizo bya Program Entanda ya Buganda nga 25 November,2024 nga bweyabadde ku 88.8 ku mutendera “Kajjampuni abalagadde mu bbwa”.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Omukyala eyazaala omuntu eyatta Ssekabaka Kimera…….. Nnattembo.
2. Tereeza ssentensi, Omuntu olina okukebera obulwadde nga siriimu, COVID 19 Mpox n’endala. Omuntu alina okukeberwa endwadde zonna ezitulira.
3. Akayozi kabbiro ak’ekika ekimu ku bika by’Abaganda, ka kika ki?………. Empeewo.
4. Olugero: Abali awamu…..… Tebalema kuyomba.
5. Omwami akwasa Kabaka akasaale ku mukolo gw’okutikkira e Nnaggalabi?……. Kayima.
6. Ekigambo Ndiiraweeru kikwanaganye n’omulimu gw’okutta enswa. ……………Enkuyege y’enswa empawu.
7. Amakulu ag’omunda ag’ekisoko. Okuzira emmere………………. Okufa.
8. Amannya g’omuntu eyayimba akayimba omuli ebigambo “Engo nebweba ya kiggwa..” …………….Lord Fred Ssebatta.
9. Erinnya lya kitaawe w’omuntu eyatemula Kabaka Kimera………….. Omulangira Lumansi.
10. Mu ndwadde ezisiigibwa mwemuli ne Mpox, tereeza ssentensi eyo mu lulimi Oluganda………. Mpox yeemu ku ndwadde ezitulira.
11. Obugala kabbiro, ka muziro ki? ………….Enjobe.
12. Olugero: Abuuza………………Alagirirwa
13. Ekigambo okusiisiina kikwanaganye n’omulimu gw’okutta enswa……………. Okusiisiina kwekutambula kw’enswa.
14. Amakulu g’ekisoko, Okukaabira mu lwayaba………………. Obutafuna mu kintu.
15. Ab’ennamutamba luyimba ani yaluyimba? …………..Alex Mukulu.
16. Omukulu w’abaweesi ba Kabaka yaani?………….. Walukagga.
17. Omuntu eyatta Kabaka Kimera kiwanuuzibwa nti Omuzimu gwa Kabaka Kimera gwamululumira, baakyesigamya ku mbeera ki? …………………Yakugwa ddalu.
18. Tereeza ssentesi, Mugoziita teyasobodde kusindika mwana, abasawo baamugyemu buggya. Mugoziita baalongoosezza mulongoose.
19. Akakumirizi kabbiro ka kika ki?……………. Ngabi Nnyuunga.
20. Olugero: Awerekera ensangi tajja nayo… Kawawa asigala ku mulyango.
21. Omukulu akwasa Kabaka ensaamu ku mukolo gw’okutikkira e Naggalabi……………. Kaboggoza e Nswangwa.
22. Ekigambo Ekitutubiko kikwanaganye n’omulimu gw’okutta enswa…….. Ze ndagala ezissibwa mu nvubo.
23. Amakulu g’ekisoko. Okukuba eyaabageye……………….. Buba butatereera mu kifo kimu.
24. Ani yayimba oluyimba olulimu ebigambo Mubune engoye?…………….. Herman Basudde.
25. Nnantabuulirirwa linnya lya kyalo naye nga lyava mu njogera, lyava mu jogera ki?…….. Kayemba nnantabuulirirwa obwato alisaabala bwabbumba.
26. Ensigo y’omuyembe emeze Omuganda agiwa linnya ki?………….. Endokwa.
27. Amannya ga Munna Uganda eyasookera ddala okuba mmeeya w’ekibuga Kampala…… Sserwano Kkulubya.
28. Omusika omukazi ddi lwatatuula ku lubugo?…………. Ng’ali lubuto.
29. Empologoma enkazi bweziba ennyingi bwezikola amaloboozi tebagamba nti zikaaba, bagamba batya? …….Ziwuunuuna.
30. Erinnya eddala egganda eritegeeza empale empanvu. ……………..Endabada.
31. Olugero: Kyenkoa bannange saagala bakinkole………………. Ng’omubbi bamubbye.
32. Ku muntu kuliko ekitundu kyebayita omubiri, kyekiriwa?……………. Ekiwato.
33. Erinnya eddala eriweebwa ekirime ekiyitibwa entungo nga lya nnono…………… Ennyaga.
34. Ssinga oli akutuma omugulireyo akatonsatonsa, oleeta ki?………. Akatiko.
35. Olugero: Nanteebuuza…………Atema etali ndagire.
36. Lwaki Abaganda akanyonyi ka nnamunye bakayita ka Katikkiro ka Katonda? …….Kubanga balaba kagenda gagwa ku nju kava ku eno kadda ku eri nebalowooza nti kalian obubaka bwekatambuza.
37. Mu nnono omuganda yajjanjaba nga ebizimba oluvannyuma lw’okubisala, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki? …..Okusama.
38. Ebizibu bibiri ebireetebwa omulimu gw’okubumba……… Awasimiddwa ebbumba wavaawo ettaka newasigalwo ebinnya ebiyinza okutta abantu ssinga babigwamu, n’okwonoona obutonde bwensi.
39. Enjovu bweziba mu bibinja ensajja zitera okukola amaloboozi, ekyo kyezikola kiweebwa linnya ki? ……….Zireereetuka.
40. Ekyoto kya nnakawere kwafumbira ekyogero ky’omwana we ekisookera ddala kiweebwa linnya ki? ……..Akasiki.
41. Olugero: Zinaakalira mu kkubo………..…Teyekkaanya mufumbi.
42. Mu lulimi oludda ku balimi b’ebijanjaalo kiki kyebayita okusala ebiso by’endiga………. Ebijanjaalo okukyusa langi.
43. Okusanga nga galinnye olunnyo kisoko, kitegeeza ki? ……………..Okusanga nga bamaze okulya.
44. Omuggo oguliko akafundikwa webakwata guweebwa linnya ki? ………Ogw’enkono.
45. Oluuma abaleega engoma lwebeeyambisa nga bazireega Omuganda aluyita atya? …………….Omuyindu.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.