Olumeggana lwa Program Entanda ya Buganda olwa nga 24 October,2024 olwabadde olwa Vvaawo-mpitweo, abamegganyi Ndawula Patrick eyafunye obugoba 26 ne Basajjamivule John eyafunye obugoba 25 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Kabali Fred eyafunye obugoba 21 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Tuweeyo embeera emu eyinza okuviirako olumbe olubadde lugenda okwabizibwa nerukwatibwa…….. Ssinga wabaawo obutakwatagana mu bamulekwa.
2. Amannya ga minisita wa Kabaka avunaanyizibw aku by’obulimi……. Owek. Hamiss Kakomo.
3. Olugero: Alaba amalinnya……. Talaba makka.
4. Mpa alidduka aliddayo mu Kyaddondo, ekisoko ekyo kiri mu mubala gwa kika ki? …….Nvuma.
5. Engo ebeera emabega g’ekiswa ng’erya enswa, eweebwa linnya ki?………… Kabuuya.
6. Kakutiya obubanja kisoko, kitegeeza ki? ……………….Njala kukuluma nnyo.
7. Erinnya lya Lubaale Musoke eddala………., Ssemunywa.
8. Amannya ag’omukulembeze wa Uganda eyalondebwa mu kulonda okwasookera ddala wano mu Uganda. ……….Benidicto Kiwanuka.
9. Amakulu g’oluseke oluzibikivu olubeera mu ndeku eweebwa omusika. ……………Lukiikirira omwana ataakaaba ow’omusika.
10. Amannya ga minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ne techinologia………… Owek Twaha Kaawaase.
11. Olugero: Agalabagana gatyangana………………. Agambejja ne Mugema.
12. Kivu kujja kuluma n’okutwalana, ekisoko ekyo kiri mu mubala gwa kika ki?………………..Musu.
13. Ezange zandibuuse, buziina bwa mukadde. Ebigambo ebyo byogerwa ddi…………… Byogerwa ssinga omussi w’eswa agamba nti ekigaanye enswa ze okubuuka, kuwunya kwa buziina bwa mukadde.
14. Okukirako embwa eridde nnumba kisoko, kitegeeza ki?………………. Kuba mukambwe nnyo.
15. Erinnya eddala erya lubaale Kawumpuli. ………………..Sserukeera.
16. Okulonda okwasooka mu Uganda kwaliwo mu mwaka ki? ………………..1961.
17. EMMWANYI EZIWEEBWA ABASIKA ZIRINA BUKULU KI? Ziba zitegeeza nti omusika alina okugabulanga abantu abanajjanga mu nju eyo.
18. Amannya ga minisita wa Kabaka ow’obuwangwa, ennono, embiri, olulimi oluganda n’ebyobulambuzi?………. Owek. Dr. Anthony Wamala.
19. Olugero: Agafunda…………………Gadda mu mwalo.
20. Bakyanja nkete, ekisoko kino kiri mu mubala gwa kika ki? ……………….Ngonge.
21. Oyawula otya enswa ensejjere ku nswa endala zonna bwozisanga nga zitambua? …………..Ensejjere zitambula bbiri ate nga zikikinazza obubina.
22. Abantu obutaagala kisereke kisoko, kitegeeza ki? …………………..Abantu abatayagaliza bannaabwe.
23. Waliwo ejjembe erimanyiddwa nga nnanyini mpingu, liweebwa linnya ki? …………………Lubowa.
24. Omwaka omwalonderwa president wa Uganda eyasookera ddala. 1963.
25. Olugero: Agenekera………………… Atuma assa.
26. Mu byafaayo bya Buganda mulimu Katikkiro akyasinze okulwa ku bukulu obwo, yaani?……………. Sir Apollo Kaggwa.
27. Okukuba omuntu enfuka kisoko kitegeeza ki? ……………..Kukola kintu ekitiisa omulabewo.
28. Ekiti kwebaleega eddiba kiryoke kifuuke engoma kiweebwa linnya ki? ……………Omulugwa.
29. Omuzaana eyakuuma Obuganda nga bba abulidde mu lutabaalo, yali wa kika ki? ………………….Ngo.
30. Kojja wa Kabaka omutongole aweebwa linnya ki? ………………..Ssaabaganzi.
31. Kiffene kyavudde wagggulu nekingwira omulundi gumu be…………………..Ddu.
32. Ku mubiri gw’omuntu kuliko ekitundu ekiyitibwa ekizigo, kyekiriwa? …………….Ekiba ekiddukavu ku bbeere ly’omukyala.
33. Omuntu bw’akugamba nt baasuze ku kigalamiro, otegeera ki? …………………Okusuza abaafiiriddwa.
34. Mu kifo webaweeseza mubaamu olweyo, lukolwa mu ki? ………………..Byayi.
35. Ekisoko okwesiba ekimyu kitegeeza ki? ………………Kwetegekera mbeera nzibu.
36. Ssaabagabo wa Buganda yaani?……………….. Mukwenda.
37. Olugero: Gaamulubaale……………….Osiima olabyeko.
38. Ekifo ente weziguugira omunnyo kiyitibwa kitya?…………………Engugo.
39. Enjuki esooka okugenda webasogola amabodde tugiyita titya?……………. Entumwa.
40. Okumulisa kw’obutiko tuyita tutya? ………………..Okuyiwa enkanja.
41. Kkoyi kkoyi, enkoko y’abato, …………………kyoya kyayo.
42. Olugero: Ekirwa mu mutwalo……………….Kiwumba
43. Amannya abiri g’omusajja eyavumbula okukomaga olubugo mu Buganda……………. Wamala ne Kaboggoza.
44. Ekyalo okuli amasiro ga Kabaka Kikulwe. …………….Kaaliiti.
45. Ekisoko, okulya omuntu ekimuli kitegeeza ki? …………….Okuyingira mu mboozi y’omuntu.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K