Ekitongole kya Buganda ki Enkuluze kisse omukago ne Centery bank okusiimba emiti mu lubiri lwa Kabaka olwe Nkoni mu ssaza Buddu.
Ebika by’emiti ebyenjawulo bigenda kusimbibwa era birambibweko amannya gaabyo mu luganda ne mu luzungu.

Omuk Kitenda ategeezezza nti Emiti egigenda okusimbibwa gyakulondoolwa bulungi nnyo,era gyakukozesebwa mu kusomesa abayizi, eby’obulambuzi n’ebirala.
Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka bwa Buganda Teddy Nabakooza Galiwango, agambye nti Emiti egigenda okusimbibwa giwera 2500, gyakuteeka ettoffaali eddene ku ntumbula y’Obutondebwensi.
Omuk okuva mu centenary Bank ettabi lye Masaka Muhumuza Owaks Silver, yeeyamye okutuukiriza obweyamo obukoleddwa okutuukiriza enteekateeka eno.
Bisakiddwa: Kato Denis