Obwakabaka bwa Buganda bukakasizza nti empaka z’amasaza ezómwaka guno 2023 ezómupiira ogwébigere, zakuggulibwawo mu kisaawe kye Wankulukuku nga 24 omwezi ogujja ogwa June.
Minister w’abavubuka ebyémizannyo nókwewumuzaamu mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, alaangiridde nti bannatameggwa bémpaka ezaakasembayo 2022 banna Busiro bebagenda okuggulawo empaka zino, nga battunka ne Mawokota eyakawangula empaka zino emirundi 3.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe