Kyadaaki emmotoka ya Kasujju, eyabiddwa mu kiro ekwatiddwa mu bitundu bye Nakuwadde Bulenga mu district ye Wakiso.
Emmotoka eno kika kya Toyota Harrier No.UBK 650Y esangiddwa mu kifo ewakuumibwa mmotoka ekya Sigaza Mukama day and night parking.
Alabirira ekifo ekyo Nkabigumira Vincent yategeezezza yageenze n’ategeeza police ebikwata ku mmotoka eno, oluvannyuma lw’okuwulira amawulire ku CBS.
Nkabigumira agambye nti waliwo abasajja abaagibaleetedde ng’obudde bukya ku ssaawa nga 10, nebategeezezza nti yabadde ebafuddeko ate baliko olugendo gyebaabadde bagenda.
Baamusabye agibikkeko ettuundubaali ereme kwokebwa musana okutuusa lwebanadda.
Police egenze emmotoka n’egiggyayo gyebadde ekukuliddwa esanze ebigaambo ebibaddeko nga baabikuutizza, nga ne namba plate eyemabega etemeddwako.
Abazigu ababadde n’ebijambiya n’emiggo bayiingiridde amaka g’omwami wa Kabaka ow’essaza Busujju, Kasujju Mark Jingo Kaberenge mu kiro, agasangibwa e Zigoti mu Busujju mu district ye Mityana.
Abazigu balumbye Omwami wa Kabaka ow’essaza Busujju – bamukubye banyaze n’ebintu