Abantu 2 bafiridde mu Kabenje akagudde mu kibuga Kampala wakati okuliraana akatale ka owino, ekimmotoka ki lukululana No. UDM 84 bwekiremeredde omugoba wakyo n’asaabala abagoba ba Bodaboda.
Abantu 4 bebakoseddwa mu kabenje kano, 2 bafiiriddewo, 2 baddusiddwa mu ddwalironga biwala ttaka.
Police etuuse mu kitundu kino neggyawo emirambo gyábafudde nga nókunonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge