Emmotoka No.UBB 837C ekutte omuliro ku lutindo lwe Nambigirwa ku luguudo lwa Entebbe Express.
Emmotoka ezirawuna oluguudo luno ez’ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga ki UNRA nga bayambibwako police enzinnyamwoto zituuse mangu, okuzikiza emmotoka.
Okusinziira ku mwogezi wa UNRA Allan Ssempebwa, abantu babiri ababadde batambulira mu mmotoka eno bavuddemu nga tebatuusiddwako buvune.
Ssempebwa agambye nti emmotoka eno yandiba ng’ekyamuse, nekwata omuliro.
Entambula esannyaladde okumala akaseera ku luguudo luno, wabula oluvannyuma embeera ezze mu nteeko.#