Abakristu n’abantu abenjawulo nga bakulembeddwamu minister wa Kampala akiikiridde Ssaabaminister, betabye mu misinde mubunabyalo, egyategekeddwa okusonda ensimbi ez’okuzimba eklezia empya ey’ekigo kya St. Jude mu Wakiso.
Ssabaminister wa Uganda Robinnah Nabbanja Musaafiiri adduukiridde entegeka eno n’obukadde bwa shs 10, bwatisse minister wa Kampala Hajati Minsa Kabanda.
EKlezia empya esuubirwa okutuuuza abakristu abasoba mu 4000.
Minister Hajati Minsa Kabanda mungeri yemu asabye bannaddini okuyambako government mukusomesa abantu program za government, basobole okweggya mu bwavu.
Mu ngeri yeemu, mu bubaka Ssaabaminister bwaweerezza assuubizza nti government erina enteekateeka ey’omuggundu gyesuubira okuyitamu okusitula ebitone by’abavubuka.
Webijjidde nga munnauganda Joshua Cheptegei yakawangula omuddaali gwa zzaabu mu misinde gya mita omutwalo gumu, mu mizannyo gya Olympics 2024 egiyindira mu kibuga Paris ekya Bufaransa.
Abakulembeze abalala okuli ssentebe wa district ye Wakiso Dr Matia Lwanga, omubaka wa Busiro East Medard Sseggona n’omubaka omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima bagamba nti ebitone singa bikwatibwa bulungi, byandikoze kyamaanyi okwongera okuwa abavubuka emirimu n’okubawa essuubi.
Emisinde gino egyetabiddwamu abantu abasoba mu 3000, omubadde n’omuddusi wa Uganda nakinku Dorcus Nzikuru, naye asabye government obutatunuulira muzannyo gwa misinde gwokka wabula batunuulire n’ebitone ebirala bizuulibwe ku myaka emito ddala, bayambeko okubikulaakulanya nga byamutindo.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo