Obwakabaka bwa Buganda butongozza emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omulundi ogwe 13, ng’emu ku nteekateeka y’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwe 71.
Omukolo gubadde mu Bulange e Mengo, era nga wabaddewo n’okutongoza emijoozi egiddukirwamu, buli gumu gwa shs 25,000/=.
Bw’abadde atongoza emisinde gino, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ajjukizza abantu ba Kabaka obuvunaanyizibwa bwebalina mu kumanya nÓkumanyisa abantu bonna akabaate akali mu Mukenenya, basobole okumumalawo ng’omwaka 2030 tegunatuuka.
Akinogaanyizza nti abantu ba Kabaka balina okuweebwa amawulire agamala agakwata ku Bwakabaka nÉmbeera zÁbantu mu byobulamu nénkulaakulana.
Katikkiro alabudde abantu ku kwejabaata okutaliiko kkomo, kyokka naasaba emisinde gyÓmulundi guno gibeere gya byayafaayo, nga abantu bongera okugijjumbira.
Ssentebe wÓlukiiko oluteekateeka emisinde gyÁmazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka era nga ye mumyuuka asooka owa Katikkiro, Owek Hajji Prof Twaha Kawaase Kigongo, agambye nti okwetegekera emisinde gino kwaakolebwa ku ntandikwa yÓmwaka guno, era nga abantu emitwalo 13 bebasuuirwa omwakaguno 2026, okuva ku bantu emitwalo 12 abadduka omwaka oguwedde 2025.
Canon Dr. Ruth Ssenyonyi Omukungu mu Uganda Aids Commission nga bano bawaddeyo Obukadde obusoba mu 30, agambye nti okusasaana kwa Mukenenya kugenze kukendeerera ddala, wadde nga obwetaavu obwokumulwanyisa mu Baana abazaalibwa bukyaali bungi.
Sahu Semendrah ku lwÁbavujjirizi bÉmisinde gyÁmazaalibwa ga Beene okuva mu Airtel Uganda, yebazizza Ssaabasajja olwa kaweefube gwatadde mu kulwanyisa Mukenenya, nebeeyama obutakoowa kuwagira nteekateeka eno.
Omukungu mu kitongole kyÁmawanga amagatte ekirwaanyisa Mukenenya ki UNAIDS Kim Gustavsen atenderezza obuvumu Ssaabasajja Kabaka bwayolesezza mu kulwanyisa Mukenenya mu Bantu be, naasaba abakulembeze bÉnnono abalala okwongeramu amaanyi.
Emisinde gy’Amazaalibwa ga Beene ag’Emyaka 71, gigenda kubaawo nga 12 April, 2026 mu Lubiri e Mengo, olwo Enkeera nga 13.4.2026 gabe Amazaalibwa gÉmpalabwa.
Emisinde gino gigenda kutambulira ku mulamwa ogwa ” Abasajja mubeere basaale mu kulwanyisa Mukenenya nga mutaasa Omwana ow’Obuwala”.
Emisinde gino giwagiddwa Airtel Uganda, CBS FM, BBS Terefayina, I&M Bank, Daily Monitor, Vision Group nÁbalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis












