Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda aka Electoral Commission kaliko ebyalo ebiwerako byekasazizaamu, nga kagamba nti byatondebwawo nga tebigoberedde mitendera egirambikiddwa.
Mu mwezi oguyise ogwa march 2022, Electoral Commission ebadde yekennenya ebyalo n’emiruka mu ggwanga lyonna,nga ketegekera okulondesa kw’obukiiko bw’abakyala n’obukiiko bw’ebyalo.
Wabula mu kwetegereza kuno, akakiiko kebyokulonda kagambye nti ebyalo byonna ebyatondebwawo okusukka ennaku z’omwezi
9 April, 2021 byasaziddwamu.
Omwogezi wa Electoral Commission Paul Bukenya agamba nti baafuna okulambikibwa okuva eri minister wa government ez’ebitundu, nga kukugira okutondebwawo kw’ebifo byobukulembeze ebiggya.
Okutandiika n’olwaleero ng’ennaku z’omwezi 11 – 20 April, 2022, Electoral Commission etandise okutimba enkalala z’ebyalo ebyekeneenyezeddwa mu Uganda yonna.
Enkalala zino zakutimbibwa ku bitebe by’amagombolola,nga kuliko ebyalo ebyakakasiddwa neebyo ebyasaziddwamu
Ebyalo ebisigaddewo biri 70,512 okwetoloola Uganda yonna.
Wabula Paul Bukenya agamba nti abantu bonna abanaaba n’okwemulugunya kwonna okukwata ku byalo byabwe,Electoral Commission yakubawuliriza.
Okulonda obukiiko bw’akyala okuviira ddala ku byalo okutuuka ku kakiiko akali ku ku metendera gw’eggwanga lyonna, kwakubeerawo mu June ne August w’omwaka guno 2022.
Ate kkwo okulonda ba ssentebe b’ebyalo n’emiruka kwakubaawo mwaka gujja 2023.