Ekibiina kyebyobufuzi ekya National Unity Platform kitadde ekitongole kyamakomera kunninga kibeeko byekinyonyola ku bawagizi bekibiina kino abali mu makomera agenjawulo, naddala e Kitalya ekibiina kino bekigamba nti tebali mu mbeera nnungi.
Joel Ssenyonyi omwogezi wekibiina kino asinzidde mu kulungaana lwabannamawulire ku kitebbe kyekibiina kino e Kamwokya naagamba nti ekibiina kize kifuna okwemulugunya okuva mu bannakibiina kino abawerako, abaze basibwaako mu makomera naddala e Kitalya olwokutulugunyizibwa kwebayita buli lunaku, okuli okubawewunyuranga kibooko nebibonerezo ebirala.
Ssenyonyi agambye nti ekitongole kyamakomera kibadde kimanyiddwa nnyo olukukola emirimu gyaakyo obulungi, nga kyekiseera kiveeyo kitangaaze ku mbeera eno bwekiba kyakusigala nga bannansi bakyogerako obulungi, kubanga amawulire ekibiina kino gekirina gali nti abawagizi bekibiina kino abasoba mu 600 abali mu kkomera lye Kitalya abali mu mbeera mbi.
Wabula omwogezi wekitongole kyamakomera mu ggwanga Frank Baine Mayanja agambye nti ekibiina kino byekyogera byakusavuwaza ekkomera lye Kitalya lyebalumiriza lirimu abasibe abasoba mu 2500 abajibwa okuva mu bitundu byeggwanga ebyanjawulo nga tebatunuulidde bibiina byabufuzi abasibe byebawagira.
Olunaku olweggulo omwogezi wa Police mu ggwanga Fred Enanga yabuulidde bannamawulire nti ekibiina kino kyakakwaata abantu abasoba mu 1000 abeetaba mu kwekalakaasa okwaaliwo mu ggwanga gyebuvuddeko, era bangi kubo baze basimbibwa mu mbuga zamateeka nebaggulwaako emisango songa abalala bakyaali mu budduukulu bwa Police.