Bannassingo beeziribanze nga beeyanza Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II olwókusiima nábagonnomolako ekirabo ssemalabo ekyéddwaaliro, ngékirabo kyáwadde Obuganda ekyámazaalibwage ag’omulundi ogwe 70.
Eddwaliro lino lyabbuddwa mu Ssekabaka Muteesa II, liyitibwa Muteesa II Health Centre IV, lizimbiddwa mu Division eyé Busimbi mu Mityana municipality, nga lizimbiddwa mu bbanga lya myaka 2.
Eddwaliro lino ligguddwawo Nnaalinnya Sarah Kagere, nga 08 April, 2025 ng’ekimu ku bijaguzo by’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwe 70.
Mu bubaka bw’eMpologoma obusomeddwa Nnaalinnya, Nnyinimu akubirizza bannassingo okwettanira okutumbula eby’obulamu nga beyunira abasawo abakugu, era bewale abantu abagezaako okubawubisa okuva ku nsonga z’Obwakabaka.
Sseggwanga Musota asiimye abantu bonna abakoze kyonna ekisoboka okulaba ng’eddwaliro lino liziimbibwa.
Ku mukolo gwe gumu Nnaalinnya kwatongolezza enteekateeka y’okugema abaana omusujja gw’ensiri mu Buganda.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka butadde amaanyi mu kusitula embeera z’abantu mu bintu ebyenjawulo, ng’eby’obulamu biri ku mwanjo ddala. Agambye nti mu bukulembezebwa Kabaka Muteesa II nebweyabeerera president, n’okutuuka mu myaka gya 1970 nga gitandika, Uganda yeyali esiinza eby’obujanjabi ebirungi ku ssemazinga Africa, ng’oggyeko amawanga agaali gakyalimu abazungu, n’olwekyo embeera eyo Obwakabaka mwebuziimbye.
Omukolo gutandise na kusaba okukulembeddwamu Omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Joseph Anthony Zziwa ne bannaddiini abalala.
Emikolo gino gyatandise ggulo ne Bulungibwansi owómuggundu eyakulembeddwamu minisita wÓbutonde bwénsi, Bulungibwansi, Amazzi nékikula kyábantu Owek. Hajat Mariam Mayanja Nkalubo, okwo gattaako olusiisira lwébyobulamu mwe bajjanjabidde abantu bÓmutanda endwadde zámaaso.
Minister w’ebyobulamu mu bwakabaka Owekitibwa Cotilda Nakate Kikomeko agambye nti eddwaliro lino ligenda kuddukanyizibwa eddwaliro lye Mengo.
Omwami wa Ssaabasajja amulamulirako essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu yenna ngávulubanye essanyu, akulembeddemu Bannassingo bonna neyeeyanza Omuteregga okubawa ekirabo kino amakula.
Amyuka omubaka wa gavumenti owa district yé Mityana Prossy Muwanguzi naye yeyanzizza Maasomoogi olwókwagala ennyo abantu be, era abuuliridde abasawo abagenda okujjanjaba abalwadde mu ddwaaliro eryo, okukwata obulungi abantu bÓmutanda.
Ssentebe wa LC 3 owa Busimbi Division nga kyékitundu omuzimbiddwa eddwaaliro lino Omutaka Malagala Daudi naye avulubanye essanyu neyeeyanza Ssekkesa, agambye nti eddwaaliro lino balirinamu essuubi ery’okutuusa obujanjabi obusaanidde ku bannassingo.
Ebikujjuko ebyókukuza amazaalibwa ga Nnamunswa bikyagenda mu maaso, era nga 11 April, wategekeddwaawo okusabira Bbaffe mu mizikiti gyonna mu Buganda.
Ku lunaku lwe lumu Kalemakansinjo yasiima okukwasa abaami bámasaza Tulakita ezirima, ngómukolo gwakubumbujjira ku mbuga ya Buganda enkulu Bulange e Mengo.
Ku Saturday nga 12 wajja kubaawo okusabira Magulunnyondo mu kkanisa zÁbadiventi wonna mu Buganda.
Ku sunday nga 13 yéntikko yémikolo egyámazaalibwa, era wategekeddwaawo okusaba mu Eklezia ne kkanisa zonna mu Buganda, ngókusaba okukulu kwakubeeera mu Eklezia lutikko eyé Lubaga, essaawa 9 ezólweggulo.