Akulira abakuumi ba president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine ayitibwa Edward Ssebuwufu Eddie Mutwe , alabiseko mu Kooti e Masaka nasomerwa emisango 6,oluvannyuma naasindikibwa ku alimanda mu kkomera ekkulu erye Masaka.
Omulamuzi wa kooti e Masaka Abdallah Kayiza amusomedde emisango 6, okuli Okubba esweeta, essimu, okukuba n’okulumya bannamawulire, okubbisa emmundu n’emirala.
Omulamuzi alagidde abakulira ekkomera e Masaka okuwa omusibe obujjanjabi obwetaagisa obw’amangu.
Eddie Mutwe aleeteddwa nga yasalibwako enviiri n’ekirevu, abadde awenyera, era ng’awaniriddwa ab’ebyokwerinda
Munnamateekawe Magelan Kazibwe agambye nti omuntuwe yatulugunyiziddwa nnyo.
Eddie Mutwe abadde amaze ennaku 5 nga talabika, oluvannyuma lw’okuwambibwa abantu abataamanyibwa mu bitundu bye Mukono.
Bisakiddwa: Tomusange Kauinja