Essaza lya Kasana Luweero (Our Lady of Fatima Queen of Peace/ Maria ow’e FATIMA Kabaka w’e Mirembe)
Ekifo kino awali ekitebe ekikulu eky’essaza kyali Kisomesa ky’essaza ekkulu mu Kampala.
Bwe waalangirirwa okufuuka ekitebe ky’essaza ku nkomerero ya 1996, tekyayita mu mutendera gw’okufuuka ekigo kyafuukirawo kitebe era newazimbibwawo Lutikko.
Father eyasooka okuba bwana mukulu ku kitebe ye Fr. Augustine Mpagi.
Lyatongozebwa nga 1.03.1997 nga lyakutulwa ku Kampala diocese, era ku lunaku luno lwebaatuuza omusumba w’e ssaza lino eyasooka omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
Omusumba Kizito bwe yavaayo lyakuumibwa Msgr Mathius Kanyerezi.
Bishop Ssemwogerere ye yaddako era bwe yaggibwaayo lyakuumibwa Msgr. Francis Xavier Mpanga.
Lyasooka kukulemberwa omugenzi Archbishop Kizito Lwanga , ne kuddako omusumba Ssemwogerere nga kati ye Ssaabasumba wa Kampala, kati eyakatuuzibwa ye Musumba Lawrence Mukasa bishop ow’okusatu ow’essaza lino.
Essaza lya Kasana – Luweero lirimu districts ssatu okuli, Luweero, Nakaseke n’e Nakasongola.
Lirimu ebigo 21.
Okuli
1. Kasana Cathedral Parish
2. Kasaala
3. Kakooge
4. Nakasongola
5. Mijeera
6. Ngoma
7. Kapeeka
8. Kiwoko
9. Nakaseke
10. Kijaguzo
11. Kannyanda
12. Nandere kyatandika 1894
13. Kalule
14. Namaliga
15. Katikamu
16. Nnattyoole
17. Zirobwe
18. Mulajje
19. Kikyusa
20. Kamira
21. Katuugo