• Latest
  • Trending
  • All
Ebinnyonyi miziro -biwummuza ebirowoozo

Ebinnyonyi miziro -biwummuza ebirowoozo

April 21, 2022
Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

May 24, 2025
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Features

Ebinnyonyi miziro -biwummuza ebirowoozo

by Namubiru Juliet
April 21, 2022
in Features, Nature
0 0
0
Ebinnyonyi miziro -biwummuza ebirowoozo
0
SHARES
593
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

Kino ekinyonyi kiyitibwa Naddibanga

Wano mu Buganda, ebinyonyi eby’enjawulo miziro era byenyumirizibwamu nnyo.

Waliwo abeddira Ngaali, Nakisinge, Kunguvvu, Ennyange n’ Ennyonyi Endiisa , era ky’abuvunanyizibwa omuntu okumanya ebitwata ki kika  kye ate assobole  okukikuuma, naddala mukaseera kano ng’obutonde bw’ensi butokomoka.

Singa obutonde tebukuumibwa, ebika ebimu byolekedde okufuuka olufumo.

Ekinyonyi ngaali kekabonero k’eggwanga, era musango okukusanga ng’osse ekinyonyi ekyo, oba okukikwata okukitunda.

Ebibira, entobazi  n’embalama z’ennyanja by’ebifo ebisinga okuwangaaliramu ebinnyonyi ebyenjawulo.

Ng’oggyeko ebinyonyi bino okuba emiziro,era byabulambuzi.

Abalala babifunako eddagala, abandi babirya, n’okubifunamu ensimbi ezigaggawaza.

Mu kisaawe ky’ebyobulambuzi okulambula n’okulaba ebinyonyi mu Lungereza kiyitibwa ‘Birding’, ky’ekimu ku bintu ebikolebwa abalambuzi era nga Uganda enogera ddala ensimbi eziwera ku mu kulaba ebinyonyi .

Ebinnyonyi bino mulimu ebinene ddala nga Bbulwe ne Kalooli, n’ebunyonyi obutono ddala nga Obunuuna nsubi, Obutaayi , Endegeya n’ebirala.

Okusinziira ku Emmanuel Mukisa omusomesa b’obutonde  bw’ensi ate nga mukugu mu binyonyi  ku Uganda Wildlife Conservation Education Cemter (UWEC)  bangi gyetumanyi nga Zoo e Ntebe, agamba nti omutunuulira ebinyonyi kiwummuza ebirowoozo,  ate nga mukaseera keekamu wabaawo okuyiga kungi.

Mukisa agamba nti enneyisa y’ebinyonyi n’enkula yaabyo ennyuma okulaba.

Mukisa anyonyola nti ebinyonyi by’awulwamu emirundi ebiri, ebiwangaalira mu bibira , saako n’ebinyonyi  eby’okumazzi, era wano wewava entandikwa y’omuntu okutandika okumanya n’okunyumirwa ebifa ku binyonyi, n’okufaayo okubikuuma.

Endabika y’ekinyonyi, okuli obunene bwakyo, langi yakyo , enkula y’omumwa , eky’ensuti , saako n’ebigere kikulu nnyo mukutegeera ekika ky’ekinyonyi omuntu ky’aba alabye .

Amaloboozi gabyo  n’ebika kyebisusunku mwebisula nabyo binyuma okutunulako.

Wano ssemazinga  Africa,Uganda yaamukisa okuba nti yeemu kunsi erina  ekinyonyi ekisinza ekisusunku ekinene  era nga ekinyonyi kino kiyitibwa Naddibanga.

Mukisa  annyonyola nti mu kaweefube mukusomesa abantu obutonde obukwata ku binyonyi, basaawo olunaku  n’esaawa abantu ba bulijjo webasobola okubegattako mu Zoo e Ntebe okulaba n’okuyiga ebikwata mu binnyonyi ebyenjawulo.

Buli lwakutaano saawa emu ey’okumakya kuba kalaba na kuwuliriza amaloboozi g’ebinyonyi ebyenjawulo.

Mu kkuumiro ly’ebisolo n’ebinyonyi ebyomuttale eryea Uganda Wildlife Conservation Education Cemter (UWEC)  bangi gyetumanyi nga Zoo e Ntebe, waliwo ebika by’ebinyonyi ebisukka mu 250.

Okusinziira ku kitongole kya Birdlife International, ensi yonna eteeberezebwa okubaamu ebika by’ebinyonyi ebiri wakati wa 9,700 ne 11,000.

Okunoonyereza kwalaga nti ebika by’ebinyonyi 1,481 byebyoleekedde okusaanawo, olw’okusaanyizibwamu kw’obutonde bwensi mwebiwangaalira, n’abantu okubiyigga babifunemu ensimbi.

Ebika bye binyonyi 159 bbyo bigambibwa okuba nti byasaanyirawo ddala munsi yonna.

Okutwalira awamu mu nsi yonna muteeberezebwa okubaamu omuwendo gw’ebinyonyi ebiri eyo mu buwumbi 430, wabula ng’ebika ebimu bingi nnyo ate ebirala bitono ddala olw’enkula n’embeera mwebibeera.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde
  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe
  • Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024
  • Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti
  • UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -