Ekirwadde ky’ebigenge kyeyonyedde okusasaana ku kizinga kye Buyiga ku nnyanja Nalubaale, mu ggombolola ye Kammengo mu district ye Mpigi.
Ekirwadde kyeraliikirizza abaayo era kivuddeko abantu abamu okutandika okusenguka.
Abatuuze bagamba nti ekirwadde kino mu bbanga ery’emyaka 20 egiyise kibadde kiruma abantu mu kimpowooze,naye ng’abasinga babadde bakiyita ddongo.
Omuntu gwekikutte asooka kufuna ekintu ekiringa ekisente nga kimusiiwa, oluvannyuma nekigenda nga kigezza, n’abandi bakutukako engalo, n’ebigere.
Ssentebe w’ekitundu Nabbongo Yosam agamba nti okuzuula nti bigenge, kyavudde ku mutuuze omu eyakwatiddwa ogusente n’akkiriza okumutwala mu ddwaliro gyebabategeerezza nti kigenge kyekyabadde kimukutte.
Agamba nti abalala ababadde bakwatibwa nga baliyita ddogo era nga bagaana okugenda mu malwaliro, so nga n’abebyobulamu babadde bababuulira ku nsonga eno, nga tebagendayo kwekennenya mbeera.
Akulira eby’obulamu e Mpigi Nannozi Margret agambye nti agenda kusindika abasawo e Buyiga bongere okwetegereza mbeera, basalewo ekiddako, nti kubanga babadde bamanyiiyo omulwadde omu yekka.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo