Olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza ga Buganda 2024 lulambudde ebifo ebigenda okutundibwamu tickets ez’omupiira guno, nga tiketi zisuubirwa okutuuka mu bifo bino ku lwokuna lwa wiiki eno nga 24 October,2024.
Mu ssaza Buddu mu kibuga Masaka, olukiiko lukakasizza nti ticket zino zigenda kutundibwa ku Hotel Next, Kaveno Restaurant ne ku office za CBS, n’ebifo ebirala ebikyekenneenyezebwa.
Mu ssaza Kyaggwe, tickets zigenda kutekebwa e Nakifuma, e Sseeta, mu kibuga Mukono n’ebitundu ebirala.
Tiketio za fayinolo ya Masaza za mitwalo 20,000/=, 50,000/= ne 100,000/=.
Mu mupiira ogwakamalirizo, Buddu egenda kuzuzumba ne Kyaggwe, ate Kyadondo egenda kuttunka ne Buweekula mu mupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu.
Fayinolo y’Amasaza egenda kubeerawo nga 02 November, 2024 mu kisaawe e Namboole.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe