
Omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Anita Among agambye nti agenda kutondawo akakiiko ak’enjawulo kanoonyereze ku nsonga y’omubaka Yona Musinguzi mwalumiririza Dr Monica Musenero nti yawuwuttanya ensimbi ezisoba mu buwumbi 70 ezaali ez’olulwanyisa Covid 19 mu ggwanga.
Among ayagala akakiiko kano kakole alipoota ku nsonga enoe kajanjule mu palamenti.Mu ngeri yeemu alagidde minister w’obutebenkevu akakase ng’ebyokwerinda bya Musinguzi binywezebwa.Ggwe olowooza ki ku nsonga eno?