Joshua Cheptegei azzeemu okuwangula omudaali gwa zzaabu mu mbiro empanvu eza mita 10,000 ez’empaka z’ensi yonna.
World Athletics Championships ziyindira mu Kibuga Budapest ekya Hungary.
Mita omutwalo mulamba aziddukidde mu ddakiika 27:51:42.
Guno omulundi gwakusatu ogw’omuddiringanwa ng’awangula zzaabu mu mpaka zino, yasooka mu 2019 e Doha Qatar ne 2022 mu Oregon mu America.
Cheptegei yegasse ku munnansi wa Bungereza Mo Farah eyawangula emidaali gino mu 2013, 2015 ne 2017.#