Abeegassi mu bibiina bya CBS PEWOSA okwetoloola Obwakabaka bajjukiziddwa obutava ku biruubirirwa by’ebibiina by’obwegassi, kibasobozese okukulaakulanira mu bwegassi.
Bwabadde yeetabye mu ttabamiruka wa CBS PEWOSA Busiro SACCO ku Rose Gardens e Kyengera, omwami wa Ssaabasajja amulamulirako essaza Bsiro Ssebwaana Charles Kiberu Kisiriiza, agambye nti abantu bangi bakyusizza obulamu bwabwe nga bayita mu bibiina by’obwegassi.
Ssebwaana mungeri yeemu ategeezezza nti abantu ba Kabaka olwokutereka ensimbi mu bweegassi, basobodde okuweerera abaana, okutandikawo Business ezenjawulo, n’Okusomesa bannaabwe ebikwaata kubweegassi.
Nanyanzi Moreen nga ye ssenkulu wa Busiro CBS Pewosa SACCO , agambye nti ebimu ku bituukiddwako mubaddemu okuggulawo amatabi amapya, Okutandikirawo abaami emirimu omuli okuvuga Bodaboda nga muno pikipiki 15 zeezaagulibwa , Okutandikawo okusomesa ba memba emirimu gy’Emikono, Okulimira awafunda n’ebirala bingi.
Nanyanzi ategeezezza nti kati essira bakuliteeka ku kubangula abantu mu bitundu ebyetaaga obuyambi mu byenfuna, bamanye obukodyo obwokutereka n’okwewola ensimbi.
Bisakiddwa: Kato Denis