Ennaku z’omwezi zaali 22 June, 1996 CBS Fm neeyingira amayengo ga Radio, ng’eyita ku mukutu ogwa 88.8.
Ssaabasajja Kabaka yasiima radio eno etandikibwewo libeere eddoboozi erigatta abantube mu Uganda n’ebweru waayo.
Ssenkulu wa CBS eyasookera ddala Rev. Dan Kajumba agamba nti kaali kaseera kakeetalo okutekeesa ekiragiro kya maasomoogi eky’okutandikawo CBS.
Agambye nti buli muntu yakola ekyetaagisa okulaba nga laadiyo eno egenda ku mpewo.
Kati emyaka 27 beddu ebigenderwa byayo ebyagitandisa bingi birabwako.
Mu bbanga lino etandiseewo program n’enteekateeka nnyingi ezikulakulanyizza banna Uganda omutali kusosola bantu omuli Entanda ya Buganda , Akazannyo ka Cbs Bingwa , Cbs Pewosa wamu n’okuwagira eby’emizannyo naddala empaka z’amasaza n’ebika.
Akulira eby’emirimu mu CBS Omuk Robert Kasozi agamba nti ng’abakulembeze ba CBS bamativu nti Radio eno omulimu ogwagitandisaawo egutuukirizza, era yeyamye nti CBS yakwongera okutuusa eddoboozi lya Ssabasajja mu bantu be.
Ensibuko y’ekirowoozo ekyazaala CBS
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi bwe yatuuzibwa ku Nnamulondo ku kasozi Nnaggalabi Buddo mu 1993 Obuganda bwabuutikirwa ennyonta ey’okumanyanga amawulire agafa embuga, anti ng’olwo abadde Ssaabataka afuuse Kabaka era nga alina okutandika okulamula Obuganda nga Kabaka.
Mu kulamula Obuganda Omutanda yalina okumanyisa abantu be ebintu ebitali bimu mu bwakabaka bwe, okubawa ennambika eneetambuza Obuganda, okufuna amawulire okuva mu bitundu by’obwakabaka byonna, okuwa abantu be amawulire ag’enkulaakulana, okubakubiriza okunyweza ennono, obuwangwa, wamu na buli mawulire gonna agatwala Obuganda mu maaso.
Omutanda yalina okulambula Obuganda, okusisinkana abantu be, okubakumaakuma, okubalambika mu nkola y’emirimu kyokka nga bino okunnyikira obulungi mu bantu be waalina okubaawo eddoboozi eritegeeza abantu ba beene ku bino byonna.
Amawulire agafa embuga geeyongera anti nga obwakabaka bulina ebintu eby’enjawulo bye bukola ebyali biteekeddwa okubunyisibwa mu Buganda yonna, wamu ne mu mawanga agatali gamu agalimu abantu Beene abaali beetaaga okumanya ebifa eka.
Mu budde obwo kyali kizibu nnyo amawulire gano okufulumizibwa nga bwe kyali kyetaagisa anti nga obwakabaka tebwalina mukutu gwa mpuliziganya yali esobola kufulumya mawulire gafa mbuga mu bujjuvu, okuggyako okugumira egyo emikutu egyaliwo, okuwaayo akaagaanya akasaamusaamu bafulumyeeko ebyo bye baalabanga nga bigya mu budde bwe baalinanga.
Ennyonta eno eyookumanya ebifa embuga, okubibunya Obuganda bwonna yayingira mu mitima gy’Abantu ba Beene, era ekirowoozo ne kireetebwa nga kya kussaawo Laadiyo eyambe mu kubunyisa amawulire gano.
Mu ngeri yeemu waaliwo obwetaavu bwokukumaakuma Obuganda okwenyigira mu bintu ebitali bimu gamba ng’okuzza engulu ebintu bya Buganda ebitali bimu, nga muno mwe mwali enkola ya Bulungi bwa nsi, okuddaabiriza embiri, okulongoosa Twekobe, okuzzaawo olusuku lwa Nnaabagereka, Ssaabasajja okulambula Obuganda, okumanyisa Obuganda amawulire agafa embuga, byonna nga birna okufunirwa w’ebiyitira okutuuka ku bantu ba Beene.
Mu budde obwo eyali katikkiro wa Buganda Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere agamba nti engeri gye waaliwo omukutu gw’eby’empuliziganya gumu omunene yaweebwa akaagaanya agende ayogere ku nsonga za Buganda era yakikola bulungi.
Olw’obudde obutono obwamuweebwa ensonga tezaggwayo era yasaba ayongerweyo obudde agguse ensonga ze yali alese mu kkubo.
Olunaku lwamuweebwa wamu n’obudde addeyo agguse ensonga.
Agamba nti yayanguwa okutuuka gye yali agenda okusinziira okuggusa ensonga ze yalina okuggusa, naye ekyamuggya enviiri ku mutwe bwe mutamukkiriza kwogera nga bwe yali ayitiddwa.
Mulwannyammuli Annyonnyola nti yakonkomalira mu kifo ekyo ne banne be yali agenze nabo okutuusa obudde lwe baalaba nga buyise, ne basalawo okuvaayo nga tebategedde nsonga yonna ebagaanyisizza kwogera so nga baali baasaba obudde era ne bakkirizibwa.
Agamba nti ekikolwa kino kyakola nga omubumbirano gw’okutandika okuzimba ekirowoozo ky’okutandikawo laadiyo ya Buganda eteebeko kwegayirira na kumala kusaba okuyisaako amawulire agafa embuga.
Ekirowoozo kino kyatandika mpola nga omukka oguva mu kikoomi oluvannyuma ne kikoleera nga oluyiira nga 22.06.1996 nga nookutuusa kati lukyayaka.
Yogaayoga CBS!