Munnakibiina kya Common Man's Party Mubarak Munyagwa amanyiddwa nga Mugaati gwa Bata, asunsuddwa akakiiko k'eby'okulonda okuvuganya ku ntebe ennene ey'obwapresident bwa Uganda mu kalulu ka 2026. Munyagwa awerekeddwako mukyala we...
Akakiiko k'ebyokulonda kasunsudde akutte bendera y' ekibiina kya Revolutionary People's Party, ku kifo ky'obwa President Bulira Frank Kabinga. Kabinga yoomu ku basunsuddwa ku lunaku olusembyeyo era yasembeddeyo ddala okusunsulwa. Bulira...
President wa National Unity Platform NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu akakasiddwa okuvuganya ku ntebe y'obwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026. Kyagulanyi asuunsuddwa ku ssaawa munaana ez'emisana, naaweza omuwendo...
Munnakibiina kya National Alliance for Transformation ( ANT) Rtd. Major General Mugisha Muntuyera Gregory akakasiddwa akakiiko k'ebyokulonda okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026. Muntu eyasoose obutalabikira...
Munnakibiina kya FDC Nathan Nandala Mafabi asunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya ku bwa President wa Uganda mu kalulu ka 2026. Oluvannyuma lw'okusunsulwa, ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda Simon Byabakama akwasizza Nandala emmotoka n'abakuumi,...
Kyaddaaki Pastor Eng. Elton Joseph Mabiriizi ajidde ku kaadi ya Conservative Party asunsuddwa okuvuganya nga president wa Uganda mu kalulu ka 2026, oluvannyuma lw'ebiwandiiko bye okukakasibwa akakiiko akavunaanyizibwa ku by'enjigiriza...
Kasibante Robert owa National Peasants Party asuunsuddwa akakiiko k'eby'okulonda aka The Electoral Commission of Uganda, okuvuganya ku bwa president bw'eggwanga mu kalulu ka 2026. Kasibante olumaze okusunsulwa naakwasibwa emmotoka n'abakuumi....
Enteekateeka z'okusunsula Elton Joseph Mabiriizi eyesimbyewo ku kaadi ya Conservative Party zikyaguddemu omukoosi, akakiiko k'ebyokulonda aka The Electoral Commission of Uganda kayimirizza eby'okumusunsula, olw'empapula ze ezimu ez'obuyigirize okuba nga zirimu...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asunsuddwa akakiiko k'ebyokulonda ka The Electoral Commission of Uganda e Lubowa, ku tiketi ya NRM okuddamu okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu...
Abantu 3 bebagenda okusooka okusunsulwa nga 23 September,2025 okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026. Okusinziira ku ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda aka The Uganda Electoral Commission of Uganda,...