Government ya Uganda erangiridde emirimu egiwerera ddala 6,858 egyetaagibwamu abakozi mu ministry n’ebitongole ebiwera130, era egambye nti omusaala gw’abakozi abo yamaze dda okugufuna. Minister w’abakozi ba Government Muluuri Mukasa yaalangiridde...
Ddoozi z'eddagala emitwalo Kumi Namukaaga (16) zezakaweebwa District ey'e Ssembabule, mu kaweefube wa government ow'okulwanyisa ekirwadde kya Kalusu mu magana (foot and mouth disease) Minister Omubeezi ow'amagana mu Ggwanga Bright...
Abasuubuzi b`omu Kampala abaakoseddwa amataba agaayingidde mu maduuka gabwe nga 31 October,2025 bakulukusizza amaziga nga battottola ennaku gyebayitamu, babadde basisinkanye abakulu abaddukanya ekibuga Kampala. Ensisinkano eno ebadde ku City Hall...
President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni alonze Lino Anguzu okufuuka Ssaabawaabi w’emisango gya government omuggya- DPP. Anguzu y’abadde omumyuka Ssaabawaabi, era ng'abadde akulira ne wofiisi evunaanyizibwa ku misango egizzibwa...
Nabbambula w'omuliro asaanyizaawo emaali y'abasuubuzi ya bukadde nabukadde bwa nsimbi, ku mwalo gwe Kigungu mu kibuga Ntebe. Abazinyamwoto okuva ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe bebayambye nebaguzikiza nga tegunasanyaawo mwalo gwonna....
Government erabudde nti ssiyakuzza bujja ndagaano zekola n’ebitongole ne Kampuni zoobwananyini, ezitagoberera biruubirirwa biteekesa mu nkola manifesto yaayo, naddala okutuukiriza ebirooto ebyateekeddwa mu nnambika ya yaayo eyenkulakulana eya National Development...