President wa Uganda era ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, alonze munnamateeka John Musiime okukulembera akakiiko akawuliriza n'okutaawuluza entalo mu NRM. Musiime wakukulemberamu akakiiko kano akaliko abantu 28 nga...
Emmotoka ya Minister omubeezi ow’abavubuka n’abaana Balaam Barugahare Ateenyi esaabadde omugoba wa bodaboda e Kagadi naafiirawo, mu gombolola ye Kyomukama mu district ye Kagadi. Mu mmotoka minister ababaddemu n'abantu abalala, ...
Eyaliko omumyuka wa Ssenkulu wa Makerere University Prof. Livingstone Sserwadda Luboobi avudde mu bulamu bw'ensi ku myaka 80 egy'obukulu, afiiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga 16 July,2025. Yazaalibwa nga...
Eyaliko omubaka wa Kawempe South Mubaraka Sserunga Munyagwa "Mugaatigwabbata" ne Moses Bigirwa eyava mu NUP, ne bannabyabufuzi abalala banjudde ekibiina ky'ebyobufuzi ekiggya bakituumye "Common Man's Party" Akabonero k'ekibiina kino Lusaniya....
Omulamuzi wa Kkooti ensukkulumu eyawummula, Prof. George Wilson Kanyeihamba avudde mu bulamu bw'ensi ku myaka 85 egy'obukulu.m olwa leero nga 14 July,2025 mu ddwaliro e Nakasero. Prof. Kanyeihamba yazaalibwa nga...
Police ye Namutumba ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba babiri abavuganya ku kifo ky'omubaka we Ssaza lye Busiki e Namutumba, eranga mukanyolagano akabaddeyo bangi balumiziddwa nebaddusibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi....
Wazzeewo obunkenke mu wofiisi w'omuwaabi w'emisango gya Government ya Uganda (DPP) ,olw'omu ku bakozi mu wofiisi eno Fatumah Bbuye Nabiwemba okusangibwa ng'afudde mungeri etanategerekeka. Nabiweemba abadde aweza egy'obukulu 47, ng'abadde...