Essaza Bulemeezi lisitukidde mu mpaka z’enkola y’emirimu n’obuweereza obulungi mu masaza ga Buganda 18 ez’omwaka 2022/2023 , lifunye obubonero 75%.
Buddu ekutte kyakubiri n’Obubonero 71%, Mawokota kyakusatu obubonero 67.3, Kyaddondo kya 4 obubonero 65.6%.
Bugerere ekutte kya kutaano efunye obubonero 59%, Buweekula kyamukaaga obubonero 58.69%, Kooki ekutte kya musanvu 55.2%.
Busiro kya munaana nÓbubonero 53.29%, Butambala ekutte kya mwenda 51.20%, Buluuli kya kkumi efunye obubonero 46.81%, Kabula kya 11 nÓbubonero 46.3%.
Kyaggwe ekutte kya 12 obubonero 45.74%, Buvuma kya 13 nóbubonero 42.2%,neddirirwa Gomba Kya 14 n’Obubonero 41.6%, Busujju ekutte Kya 15 n’Obubonero 40%, Ssese Kya 16 n’Obubonero 40%, Ssingo Kya 17 n’Obubonero 32.5%, ate Mawogola nesemba nÓbubonero 22%.
Mu gombolola ezikoze obulungi Mutuba 4 Kawuga mu ssaza Kyaggwe yesinze, neddirirwa Mumyuka Nsege Butambala, Mumyuuka Kayunga mu Bugerere ekutte kya kusatu, Mumyuka Kamengo ekutte kya kuna okuva mu ssaza mawokota, songa mu kyokutaano mubaddemu Mutuba gumu Nakisunga.
Bwabadde alangirira abawanguzi mu Bulange e Mengo ,Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti omulimu gw’okuzza Buganda ku ntikko ssi ngombo ecamuukiriza abantu, neyeebaza olukiiko olusaze empaka zino olukulembeddwamu Godfrey Male Busuulwa nóMumyukawe Ssali Damascus olw’obuweereza buno.
Minister wa government ez’ebitundu era nga yavunanyizibwa ku kutambula kwa Beene Owek Joseph Kawuki, agambye nti ensala yémpaka zino ebadde etambulizibwa mu bweerufu.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima nti essaza eribeera likize ku gannaago lyeriba litegeka olunaku lwa bulungi bwansi ne government ez’ebitundu, olutera okukwatibwa buli nga 08 October.
Ssentebe wÓkukiiko olusazi lwempaka zámasaza ezÓbuweereza Godfrey Male Busuulwa, agambye nti baakukola ekisoboka okubaako ettoffaali lyebongera ku bwakabaka, nga batumbula obuweereza mu masaza ga Beeene gonna.
Bisakiddwa: Kato Denis