Obwakabaka bwa Buganda busabye abaami b’Amasaza nÁbamyuuka baabwe okuyambako okunoonyereza n’okuzuula ebintu bya Buganda yonna gyebiri, era nebalabulwa obutagezaako kukumpanya ttaka lya Bwakabaka, nti anaakikola yanaamanya.
Okulabula kuno kukoleddwa ministerw’Ettaka n’Ebizimbe Owek David Fredrick Kisitu Mpanga, bwabadde abasisinkanye mu musomo ogutegekeddwa ekitongole ky’Ebyetaka ki Buganda Land Board mu Bulange e Mengo.
Owek Mpanga asabye Abaami b’Amasaza okumanya nti ba Kabaka ba Buganda wamu n’Abaami baabwe mu biseera byedda tebeenyigirako mu mivuyo gy’Okutunda e Ttaka, ekyafuula Buganda ensi eyegombebwa.
Owek Mpanga asabye Abaami bonna okukolagana Obulungi n’ekitongole ky’Ettaka mu Bwakabaka ki Buganda Land Board balabe engeri y’Okukulaakulanyaamu ettaka ly’Obwakabaka nga teritundiddwa.
Alabudde n’abantu bonna abakyasaatuukira ku ttaka n’ebiziimbe by’Obwakabaka okubiddiza nnyinibyo abikozese.
Ssenkulu wa Buganda Land Board Omuk Simon Kaboggoza Muwanga, agambye nti ekitongole kyakulembera kirina obuvunaanyizibwa ku ttaka ly’Obwakabaka lyokka, okuliteekerateekera n’okulikuuma, neyeebaza Obwakabaka olw’Okusoosowasa ensonga z’Ettaka.
Ssenkulu wa Namulondo Investments Ltd Maria Namuyaba Walakira, alambuludde obuvunaanyizibwa bw’Ekitongole kya Kabaka kino mu kutaasa ebizimbe by’Obwakabaka, neebyo ebituukiddwako.
Agambye nti essira liteekeddwa kukunoonyereza n’okuzuula ebizimbe by’Obwakabaka yonna gyebiri, okumanya embeera mwebiri, era nekisobola okubikolebwako, okulaba nga biganyula obwa Kabaka.
Annyonyoddenti baakazuulako ebiziimbe 623, wabula nga mukiseera kino Obwakabaka bulinako ebizimbe 13 byokka omuva ensimbi okuddukanya emirimu gy’Obwakabaka.
Ebiziimbe bya Buganda 623 ebyakazuulwako gyebisaangibwa;
Busujju 15
Kyadondo 43
Buddu 108
Busiro 32
Mawokota 50
Ssingo 57
Gomba 23
Bugerere 14
Butambala 2 byokka
Bulemeezi 70
Buluuli 20
Buweekula 34
Ssese 20
Mawogola 20
Kyaggwe 115
Minister wa government ezebitundu Owek Joseph Kawuki asabye ebituukiddwako mu nsisinkano eno omuli okulwanyisa Abatamanyaηηamba abeekomya ettaka lyÓbwakabaka bissibwe mu nkola, ettaka lyÓbwakabaka likozesebwe mu mateeka.
Bisakiddwa: Kato Denis