CENTRAL BROADCASTING SERVICES LIMITED
CBS nga radio y’Obwakabaka ekolagana n’ebitongole by’obwakabaka byonna mu nteekateeka y’okutuusa obubaka obwenjawulo ku bantu ba Kabaka yonna gye bali, okuyita ku radio n’emikutu emirala egiri ku mutimbagano.
KABAKA FOUNDATION
Ekitongole kya Kabaka Foundation kyatandikibwawo mu mwaka gwa 1995, n’ekigendererwa eky’okukwanaganya emirimu egyenjawulo egigasiza awamu abantu ba Kabaka.
Kivunaanyizibwa kukukwanaganya n’okulondoola emirimu egikolebwa ebitongole bya government eya wakati okulaba engeri gyegisobola okuganyula abantu, ebitongole by’obwannakyewa, n’abantu kkinoomu abewaayo okukyusa obulamu bw’abantu ba Kabaka.
Mu nteekateeka zeekikola mulimu okukuꞃꞃaanya omusaayi nga kikolegana n’ebitongole bya government, n’ensonga z’eby’obulamu endala.
Ekitebe kiri mu Bulange e Mengo.
BUGANDA LAND BOARD
Buganda Land Board ky’e kitongole Ssaabasajja Kabaka kyeyasaawo okulabirira ettaka n’ebintu byonna ebyaddizibwa obwabakaka mu tteeka lya 1993 (restitution of assets and properties Act of 1993).
Ebintu bino mulimu ekizimbe kya Bulange e Mengo, Butikkiro, ekizimbe kya Kooti y’e Mengo, ettaka lya Kabaka eriwezaako sq 350, ettaka alya Namasole sq 10, ettaka lya bannalinnya, Amasiro ga bassekabaka, Embiri, Ennyanja ya Kabaka, Basiima house, ettaka lye Kakeeka,eyali ennyumba y’omuwanika ney’omulamuzi n’ebirala bingi.
Waliwo ettaka eddala eriri ku byapa ebyakomezebwawo okuva mu government eya wakati, nga byesigama ku ndagaano eyakolebwa wakati wa President Yoweri Kaguta Museven ne Ssaabasajja Kabaka.
Ebayapa bino kwekuli ebitebe by’amasaza n’amagombolola, ettaka eddala lyesudde mu bibuga ebyenjawulo ne mu byalo, okuli obutale obwa Buganda ng’ake Kibuye, n’obulala.
Ekitebe ekikulu kiri ku kizimbe Masengere saako ne wofiisi endala ezisangibwa mu masaza ga Buganda.
NNAABAGEREKA DEVELOPMENT FOUNDATION
Ekitongole kino kyatandikibwawo Nnaabagereka Sylivia Naginda mu mwaka gwa 2000, n’ekigendererwa eky’okusitula embeera z’abantu naddala abaana, abawala n’abalenzi, abakyala n’abavubuka n’abantu bonna abaliko obulemu.
Kitandiseewo enteekateeka nnyingi ezikwata ku nkuza n’endabirira y’abaana, omuli ekisaakaate kya Nnaabagereka ekigederera okuyigiriza abaana empisa n’okweyimirizaawo mu bulamu obwa bulijjo.
Kyenyigira mu nteekateeka ezikwata ku byenjigiriza, eby’obulamu omuli endiisa y’abaana, eby’okuzaala n’okulwanyisa mukenenya HIV / AIDS n’ebirala. .
Okukubiriza abantu okulwanyisa obwavu, okutumbula obuyonjo, okulwanyisa endwadde ez’engeri zonna, n’okukuuma obuwangwa n’ennono.
Wofiisi za Nnabagereka Development Foundation ziri mu Bulange e Mengo.
BICUL ( Buganda Investments and Commercial Undertakings Ltd)
Kampuni evunaanyizibwa kukuteekerateekera n’okulondoola ebikwata ku migabo gyonna Obwakabaka bwegirina mu kampuni n’ebitongole ebyenjawulo.
Yevunaanyizibwa kukukola emikago egikwata mu by’ensimbi mu Bwakabaka.
Ekitebe ekikulu kiri mu Bulange e Mengo.
MAJESTIC BRANDS
Kampuni eyatandikibwawo Obwakabaka n’ekigedererwa eky’okwongera okutunda ekifaananyi kya Buganda mu bantu bonna, n’okutandikawo ebintu ebisobola okuvaamu ensimbi, ng’ekolaganira wamu ne kampuni ya BICUL.
Wofiisi za Majestic Brands zisangibwa mu Bulange e Mengo.
NAMULONDO INVESTMENTS LIMITED
Namulondo Investments Ltd ye Kampuni evunaanyizibwa kukulabirira ebizimbe by’obwakabaka byonna, n’okuzimba ebizimbe ebirala ebisobozesa Obwakabaka okufunamu ensimbi.
Ekitebe kya wofiisi eno kisangibwa ku kizimbe Muganzirwazza e Katwe mu Kampala.
K2 TELECOM
K2 Telecom omukutu gwa Buganda ogw’ebyempuliziganya ogw’essimu. Gwatta omukago ne kampuni y’essimu eya Airtel, era nga gukozesa ennamba eya 0708………..
BBS TELEFAYINA
BBS telefayina ye TV y’obwakabaka bwa Buganda, yatandikibwawo mu 2015. BBS kigwayo nti Buganda Broadcasting Services. BBS esangibwa ku kizimbe Masengere e Mengo, era ng’eweerereza ku mikutu okuli Star Times, DSTV, GO tv, Azam, Zuku, Free to air, Airtel TV ne Yo tv.
SSUUBIRYO ZAMBOGO SACCO
Ssuubiryo zambogo Sacco esangibwa ku kizimbe Masengere.
BUCADEF
Kitongole kya Buganda ekyatandikibwawo mu 1994, okukola emirimu gy’obwanakyewa eri abantu abenjawulo omuli okutumbula eby’obulimi, amazzi amayonjo n’ebirala.
BUCADEF esinga kukola emirimu egigenderera okukulakulanya ebitundu eby’ebyalo n’obubuga obutonotono obukyakula, okulwanyisa obwavu n’enjala.
Wofiisi za BUCADEF zisangibwa mu Bulange e Mengo.