Obwakabaka bwa Buganda butandise Kawefube owookubangula abasawo mu masaza agenjawulo abagenda okukola mu malwaliro agazimbibwa Obwakabaka .
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll yasiima okutumbula eby’obulamu mu bantube era yateekawo enkola ey’okuzimba amalwaliro wamu n’okuweerera abayizi okusoma obusawo ,n’okuzimba amalwaliro mu buli Ssaza .
Minister we byobulamu mu Bwakabaka Owek Cotilda Nakate Kikomeko ategezeza nti entekateeka yokubangula abayizi yatandika nokubangula abayizi abasoma obuzaalisa, nga bakolagana n’eddwaliro lye Mengo.
Mu ngeri yeemu Owek Nakate ategezezza nti Obwakabaka bubakanye n’omulimu gw’okunoonya ebyuma eby’ekikugu ebigenda okukozesebwa mu malwaliro 3 ag’Obwakabaka Okuli Muteesa II Hospital Nyenga Kyagwe ,Muteesa II hospital Busimbi Singo,Mutuba II Hospital Mukungwe Buddu .
Oluvanyuma lwokumaliriza amalwaliro gano 3 gakugatibwa ku malwaliro 4 okuli Muteesa II hospital Kalasa Bulemezi ,Muteesa II hospital Nsangi Busiro ,wamu ne Edwaliro eritambula erye mmotoka .
Owek. Nakaate agamba nti amalwaliro g’Obwakabaka bweganaaba gatandise okuweereza gakuyamba abantu obutatindigga ngeendo mpanvu nga banoonya obujjanjabi, era asabye abantu ba Ssabasajja Kabaka okugettanira.
Bisakiddwa: Nakato Janefer