Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza abakulembeze ba Ssaabasajja ku mitendera egyenjawulo, abakoze ekisoboka okunnyikiza Federo ey’Ebikolwa , ng’eno yeemu ku nsonga ssemasonga ettaano Obwakabaka kwebutambulira.
Mu myaka 31 nga Ssaabasajja Kabaka ali ku Namulondo, Enkola ye Federo ey’Ebikolwa ennyikidde nnyo nga etambulidde wamu n’Enyingo ey’Okukola Obutaweera, nga kino kiwadde Obwakabaka essuubi ly’Okudda ku ntikko.
Katikkiro Mayiga abadde ayogerako eri abantu ba Buganda ng’ayita ku Program Londoola Ensonga ku 88.8 n’Omuweereza Dr Sam Kazibwe, ne ku mukutu gwa CBSFM UG ku Youtube, ne BBS terefayina, mu kwetegekera okujjukira amatikkira g’Empologoma aga 31,nga abantu ba Ssaabasajja balima emmwanyi, baakukyuusa embeera zaabwe era babe bulungi, songa ne mu by’obulamu Ssaabasajja ajunye abantube.
Katikkiro ategeezezza nti wadde Obwakabaka bulina omulimu gwebukoze mu kutumbula Obumu, naddala mu bannabyabufuzi , bannakatemba, abakugumu kisaawe ky’ebyobulamu naabalala, Buganda yakugenda mu maaso okusoosowaza Obumu kuba yentabiro y’Enkulaakulana.
“Obumu bw’abantu ba Buganda gwe gwali omusingi gw’Obwakabaka okuddawo. Era Kabaka Mutebi bwe yava mu buwaŋŋanguse mu 1986, ensonga gye yasoosoowaza yali ya bumu obw’abantu ba Buganda, era n’okuva mu 1993 lwe yatikkirwa okutuuka kati mu 2024 gy’ emyaka 31, Obumu y’ebadde ettaala emulisa ekkubo lya Buganda ery’okudda ku ntikko” – Katikkiro Mayiga
Katikkiro era asabye bonna abakwatibwako ku nsonga z’Okutumbula Obuntubulamu bakozese amakubo gonna budde mu bantu, kubanga singa bwongera okuseebengerera kyakuttattana eggwanga lino.
Katikkiro atenderezza Nnaabagereka Sylvia Naginda olw’Enteekateeka y’Okutumbula Obuntu Bulamu mu baana abato, nti kubanga ebiriwo biraga nti abantu abakulu bongedde okuweebuuka olw’Obutaba na buntu bulamu.
Mu myaka 31 nga Empalabwa etudde ku Namulondo ,katikkiro agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okunyweera, ekitali ku bukulembeze bwa Nnono obulala obwaali bugiddwawo nebutadda ngulu.
Katikkiro yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’Okukozesa eddoboozirye n’Ensimbi okusitula Omutindo gw’Ebyenjigiriza , songa n’Olulimi Oluganda olwooleka Ekitiibwa kya Buganda lwongedde Okututumuka, nga kino kyeyolekedde nnyo mu Luganda okussibwa ku mukutu kanoonya Google.
Okujjukira Amatikkira g’Omutanda kwakubaawo ku Wednesday nga 31 July, 2024.
Emikolo emikulu gyakubeera mu Lutikko e Namirembe.
Enteekateeka y’okusaba etandise na kusaala okwenjawulo mu mizikiti gyonna egiri mu Buganda, era Obwakabaka buweerezzaawo obubaka obusomeddwa eri abaddu ba Allah nga basabira Nnyinimu Sseggwanga Ssaabasajja Kabaka, ate nabo okubazaamu essuubi okukola obutaweera n’okukuuma obumu.
Amatikkira ag’omulundi ogwa 31 gatambulira ku mulamwa ogugamba nti “Obumu bwaffe gemaanyi ga Nnamulondo.#