Ttiimu y’essaza Buddu ne Kyaggwe zesozze oluzannya olwakamalirizo olw’empaka z’aMasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere oluvannyuma lw’okusomoka omutendera gwa semifinal.
Buddu okutuuka ku final ewanduddemu Kyadondo ku mugatte gwa goolo 4-2, nga Buddu egudde maliri ne Kyadondo 1-1 mu kisaawe kya Kitovu Arena mu kibuga Masaka, ate nga oluzannya olwasooka Buddu yaluwangula goolo 3-1 e Wankulukuku.
Kyaggwe ewanduddemu Buweekula ku mugatte gwa 2-1, nga kati ttiimu zombiriri zigudde maliri ga 0-0 e Mubende.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke, yebaziza Bannabuddu bonna abalina kyebakoze Buddu okutuuka ku final, era nti ku mulundi guno ekikopo kibali mu ttaano.
Final ya masaza egenda kubeerawo nga 02 omwezi ogujja ogwa November,2024 mu kisaawe e Namboole, nga okuyingira kwa shs emitwalo 20,000/= emitwalo 50,000 ne mitwalo 100,000/=.
Buddu ku final egenzeyo omulundi ogw’omusanvu, ate Kyaggwe egenzeyo omulundi gwayo ogusoose.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe