Ttiimu y’essaza Buddu eyongedde okutangaaza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja bw’ekubye Butambala goolo 1-0 mu mipiira ogubaddeko n’okuluma obugigi mu kisaawe kya Kitovu Arena mu kibuga Masaka.
Goolo ewadde Buddu obuwanguzi eteebeddwa Nsubuga Martin Nabutono.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, asinzidde ku mupiira guno neyebaza ttiimu zonna olw’omutindo gwezoolesezza, kyokka nasaba abazannyi, abatendesi nabawagizi okwongera okusosowoza ensonga y’empisa.
Emipiira emirala, Ssingo erumbye Kyaggwe omwayo n’egikubirayo goolo 1-0 e Mukono.
Buweekula erumbye Mawogola omwayo n’egikubirayo goolo 1-0 mu kisaawe e Ssembabule.
Buluuli egudde maliri ne Bulemeezi goolo 2-2 e kakooge.
Bugerere egudde maliri ne Kyadondo goolo 1-1 e Ntenjeru.
Kkooki egudde maliri ne Gomba goolo 1-1 ku Rakai PTC.
Busujju egudde maliri ne Busiro goolo 1-1 e Kakindu.
Kabula ekubye Buvuma goolo 2-1 e Lyantonde.
Bisakiddwa: Isa Kimbugwe