Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulira ebitongolebyÓbwakabaka naddala ebiri mu lubu lwÉbyobulimi okufuba okulaba nga Obungi bwÉmwaanyi bweyongera, kubanga lyÉssuubi lya Buganda.
Abadde ayanjulirwa Ssenkulu omuggya owÉkitongole kyÉbyobulimi mu Bwakabaka ki BUCADEF Omuk Alfred Bakyusa azze mu bigere byÓmukungu Robert Musenze mu Bulange e Mengo.
Katikkiro ategeezezza nti BUCADEF okuviira ddala mu mwaaka 1996 etaddewo enkulaakulana mu bantu ba Kabaka abali mu Byalo, era nga Omukululo ogwo tegusaanye kuvaawo.
Katikkiro asabye Omuk Bakyuusa okukulembeza Obuyiiya nÓbweerufu mu nzirukanya yÉmirimu, era naasaba entekateeka yÓkutumbula okulima Emwanyi nÉmmere egundiire mu Bakyaala nÁbavubuka, ku lwenkulaakulana yÓbwakabaka eyannamaddala, nga Ekiragiro kya Ssabasajja bwekigamba.
Minister wÉbyobulimi Obulunzi nÓbweegassi Owek Hajji Hamis Kakomo, ategeezezza nti Obwakabaka bulina essuubi ddene mu ssenkulu Omuggya, olwÉmitendera mwayise egyekeneenyezeddwa.
Ssentebe wa Bboodi ya BUCADEF Omuk Ben Ssekamatte, agambye nti balina enteekateeka yÓkukifuula ekitongole ekyetengeredde nga kiyita mu kwenoonyeza Ensimbi , nga kiyita mu buyiiya obwenjawulo.#