Omuzannyi wa club ya Manchester United e Bungereza, Bruno Fernandes, ezizza buggya endagaano ye ne club eno,wakujicangira endiba ebbanga eddala lya myaka 4 okutuuka mu 2026.
Bruno Fernandes munnansi wa Portugal wa myaka 27.
Mu ndagaano empya eye myaka 4 mutereddwamu akawaayiro nti esobola okwongerwayo omwaka omulala gumu.
Bruno Fernandes okujja mu Manchester United yava mu club ya Sporting Lisbon eya Portugal mu January wa 2020.
Yakacangira Manchester United emipiira 117 nateberamu goolo 49.
Abazannyi abalala okuli Paul Pogba, Jesse Lingard, Edison Cavani ne Juan Mata endagaano zabwe zigwako season eno.
Manchester United yakudda mu kisaawe enkya ku lw’omukaaga okuzannya ne Leicester City mu mpaka za premier league e Bungereza