• Latest
  • Trending
  • All
Bishop Lawrence Mukasa atuuziddwa ng’omusumba owokusatu owa Kasana- Luweero

Bishop Lawrence Mukasa atuuziddwa ng’omusumba owokusatu owa Kasana- Luweero

August 5, 2023

Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao

March 6, 2026

MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga

March 6, 2026

Afande Asan Kasingye abadde omwogezi wa SC Villa Jogo Ssalongo asuddewo omulimu

March 6, 2026

Donald Trump azzeemu okulabula Iran nti bwetawanika – eyolekedde okufuuka amatoongo

March 6, 2026
Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

March 6, 2026
President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

March 5, 2026
Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

March 5, 2026
Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

March 5, 2026
Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

March 4, 2026
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

March 4, 2026
Obwakabaka bwa Buganda luzimbye oluzzi lwa Nnayikondo e Nnamaliiri – bayambiddwako aba Wells of Life

Obwakabaka bwa Buganda luzimbye oluzzi lwa Nnayikondo e Nnamaliiri – bayambiddwako aba Wells of Life

March 4, 2026
SC Villa Jogoo Ssalongo erangiridde akakiiko akagenda okulondesa obukulembeze obuggya – avuganya ku bwa president bwa Club wakusasula obukadde bwa shs 100 tezimuddizibwa

SC Villa Jogoo Ssalongo erangiridde akakiiko akagenda okulondesa obukulembeze obuggya – avuganya ku bwa president bwa Club wakusasula obukadde bwa shs 100 tezimuddizibwa

March 4, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Bishop Lawrence Mukasa atuuziddwa ng’omusumba owokusatu owa Kasana- Luweero

by Namubiru Juliet
August 5, 2023
in Amawulire
0 0
0
Bishop Lawrence Mukasa atuuziddwa ng’omusumba owokusatu owa Kasana- Luweero
0
SHARES
242
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

Omusumba w’essaza lya klezia Kasana – Luweero Lawrence Mukasa atuuziddwa ku ntebe y’Obusumba, okukulembera essaza lino.

Omusumba Lawrence Mukasa atuuziddwa Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere,assiddwaako emikono ng’akabonero k’ikugabana obuyinza.

Ssabasumba Ssemogerere era asiize Omuzigo gwa Crisma ku mutwe gw’Omusumba Mukasa, akabinero akooleka nti Omusumba ono alondeddwa era naayawulwa.

Omwepisikoopi Lawrence Mukasa akwasiddwa Vanjiri, naalagirwa okubunyisa enjiri ya Kristu mu Ssaza lino lyonna n’ensi yonna.

Omusumba assiddwaako empeta nga akabonero akalaga nti agattiddwa ne Eklezia, atikkiddwa enkofiira nga ekitiibwa ky’Obutuukirivu, era n’akwasibwa Omuggo gw’Obusumba.

Omusumba Lawrence Mukasa ye bishop we Kasana Luweero owokusatu, azze mu bigere bya Paul Ssemogere eyali okubiri nalondebwa okufuuka Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, ate omugenzi Dr.Cyprian Kizito Lwanga yayasooka okulikulembera n’agibwayo ng’alondeddwa okufuuka Ssaabasumba naye owa Kampala.

Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere asabye Bannakasana Luweero okubeera abawulize eri Omusumba Lawrence Mukasa,mungeri eyenjawulo naamusaba agumire byonna ebisomooza essaza, era akole nnyo n’okusaba Omukama abimalewo.

Ekitambiro kya mmisa kino ekibadde ku kitebe ky’essaza Lya Kasana Luweero kikulembeddwamu Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemoogerere, era kyetabiddwako abakungu okuva mu Bwakabaka ne government eyawakati.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’amuweereza obubaka, bwetikkiddwa Nnalinnya Agnes Nabaloga.

Obwakabaka bukulembeddwamu Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Prof Dr Haji Twaha Kawaase Kigongo,Nalinnya Agnes Nabaloga, Katikkiro eyawummula Owek Eng JB Walusimbi ,minister wa government ezebitundu Owek Joseph Kawuki, minister w’Amawulire era omwogezi w’Obwakabaka eyawummula Owek Denis Walusimbi Ssengendo, abaami b’Amasaza,n’abakungu mu bitongole by’Obwakabaka.

Mu government ya wakati Omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Rt Maj Jessica Alupo yakiikiridde omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni, minister omubeezi owebyenjigiriza ebyawaggulu Owek JC Muyingo,ababaka ba parliament nabantu abalala bangi.

Government eyawakati etonedde omusumba omuggya emmotoka kapyata, yetikkiddwa omumyuka wa president Rtd Major Jesca Alupo.

Bisakiddwa: Kato Denis

 

EBYAFAAYO

Bishop Lawrence Mukasa  muzzukulu wa Kasujja yeddira Ngeye.
Yazaalibwa nga 14.03.1957 e Nabwiri mu Busujju. Bakadde be be bagenzi Steven Lutwama eyali omusomesa  omutendeke so nga ate nnyina ye  Elizabeth Namusoke eyali omusawo.

Yakamala mu buweereza bwa klezia emyaka 39.

Abadde Vicar general wa Kiyinda Mityana okumala emyaka 18

Azze mu Kasana Luweero nga ye musumba owookusatu okukulembera essaza lino.

Bishop Lawrence Mukasa agamba nti lumu kitaawe yali ajja Kampala mu 1969 okwaniriza Paapa Paulo VI  eyajja naye e  Kampala, era nti  a ppaapa yamuwa omukisa osanga kino kye kyafuuka emmanduso kweyajja okusoma obusaaseredooti.

Okusoma kwe :

-1964 okutuuka mu 1969 yasomera e Kakindu P/S

-1970 Okutuuka mu 1972 yeegatta ku Nswanjere Preperatory School

-1972 -1976 yeegatta ku Kisubi Seminary

-1977 -1979 Major Seminary Katigondo

-1980 pastoral work yamukolera mu kigo kye Kijaguzo Bulemeezi.

-1981 – 1984 Ggaba National Major Seminary

-Nga 14.08.1983 yayawulibwa nga Omudeacon

-24. June 1984 yaweebwa obusaaseredooti,   ( Cardinal Emmanuel Wamala ye yamuwa omusaaseredooti)

-July – Dec 1984 yali mu kigo kye Bukalagi ekya Kiyinda Mityana.

-Jan 1985 – 1986 yali mu kigo kye Nnaluggi nakyo kiri mu Kiyinda Mityana.

-July 1986 – 19 89 Katigondo ng’omusomesa wa history of the church

– 1989 Augst –  1992 yagenda e Rome okusoma mu Gregorian University

– Sept 1992 – 1997 yali Katigondo general spirit director, eyo gyeyava n’addayo mu Kiyinda Mityana gy’aweererezza mu bifo ebyenjawulo okutuuka mu 2023.

Omutukuvu Paapa yamulonda nga 29.04.2023 okufuuka omusumba we Kasana Luweero.

Essaza lya Kasana Luweero (Our Lady of Fatima Queen of Peace/ Maria ow’e FATIMA Kabaka w’e Mirembe)

Ekifo kino awali ekitebe ekikulu eky’essaza kyali Kisomesa, kyokka bwe waalangirirwa okufuuka ekitebe ky’essaza  ku nkomerero ya 1996, tekyayita mu mutendera gw’okufuuka ekigo kyafuukirawo kitebe era newazimbibwawo Lutikko.

Father eyasooka okuba bwana mukulu ku kitebe ye Fr. Augustine Mpagi.

Lyatongozebwa nga 1.03.1997 nga lyakutulwa ku Kampala diocese,  era  ku lunaku luno lwebaatuuza omusumba w’e ssaza lino eyasooka omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga.

Omusumba Kizito bwe yavaayo lyakuumibwa Msgr Mathius Kanyerezi.

Bishop Ssemwogerere ye yaddako era bwe yaggibwaayo lyakuumibwa Msgr. Francis Xavier Mpanga.

Lyasooka kukulemberwa omugenzi Archbishop Kizito Lwanga , ne kuddako omusumba Ssemwogerere nga kati ye Ssaabasumba wa Kampala.

Lirimu districts ssatu okuli, Luweero, Nakaseke n’e Nakasongola.

Lirimu ebigo 21.

Okuli

1.    Kasana Cathedral Parish

2.    Kasaala

3.    Kakooge

4.    Nakasongola

5.    Mijeera

6.    Ngoma

7.    Kapeeka

8.    Kiwoko

9.    Nakaseke

10.                       Kijaguzo

11.                       Kannyanda

12.                       Nandere kyatandika 1894

13.                       Kalule

14.                       Namaliga

15.                       Katikamu

16.                       Nnattyoole

17.                       Zirobwe

18.                       Mulajje

19.                       Kikyusa

20.                       Kamira

21.                       Katuugo

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao
  • MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga
  • Afande Asan Kasingye abadde omwogezi wa SC Villa Jogo Ssalongo asuddewo omulimu
  • Donald Trump azzeemu okulabula Iran nti bwetawanika – eyolekedde okufuuka amatoongo
  • Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist